Omuwala akecuddeko muganzi we abadde yaakadda ku kyeyo obusajja, n’amuleka ng’ataawa n’akuuliita n’ebiwandiiko bye byonna
Jun 20, 2023
Poliisi y’e Mukono, eri ku muyiggo gw’omuwala Desire Kisakye Nsimenta 25, eyakidde abadde muganzi we Vincent Sseguya n’amusalako obusajja kujula kubukutulako.
By Joanita Nakatte
Journalist @New Vision
Poliisi y’e Mukono, eri ku muyiggo gw’omuwala Desire Kisakye Nsimenta 25, eyakidde abadde muganzi we Vincent Sseguya n’amusalako obusajja kujula kubukutulako.
Bino bibaddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero ku kyalo Kirangira B ekisangibwa mu Ggulu ward mu munisipaali y’e Mukono.
Sseguya Eyasaliddwako Obusajja Ng'ali Mu Ddwaliro.
Sseguya asangiddwa mu ddwaliro lya Mukono Church of Uganda Hospital, annyonnyodde nga bw’ababadde yaakava ku kyeyo mu gwanga lya Qatar gy’amaze emyaka etaano era nga n’okudda omuwala yali tayagalira ddala akomewo ku nsonga z’atategeera era nti yakola byonna okumulemesa okudda e Uganda.
“Eneeyisa ye eno ye yampaliriza okudda wabula bwe nakomawo, kyambuukako bwe nasanga nga n’ensimbi ze naweerezanga okuddaabiriza ennyumba zange ez’abapangisa nga yazikozesa dda ebibye era awo olutalo we lwatandikira.
“Twandika okuyomba buli kiseera emirembe ne gibula awaka. Yasooka n’anoba kyokka oluvannyuma abazadde ne bayingira mu nsonga zaffe ne tudding’ana nga ssimanyi nti alina miisoni ya kutwala bulamu bwange.”Sseguya bwe yagambye.
Nsimenta Anoonyezebwa Poliisi Nga Bw'afaanana.
Ayongeddeko nti gye buvuddeko, Nsimenta yamutega obutwa mu mazzi ga caayi wabula n’abusimattuka oluvannyuma lw’okuwulira ekisu ky’obutwa bw’emese mu caayi gwe yali amutegekedde era nga kuno kw’abadde agasse n’okumulimba nga bw’ali olubuto.
Agamba nti ku ssaawa nga 11:00 ez’oku makya, Nsimenta amugwikirizza ng’ali mu tulo otungi, n’amusala obusajja n’akambe akabadde akoogi ennyo era nga mu kulwanagana,omuwala era amusaze akambe ku mukono n’amulekera ebiwundu eby’amaanyi.
Ategeezezza nti amangu ddala akutte ndaga muntu ye, pasipooti, n’essimu ebya Sseguya n’adduka nabyo era ng’ono mu kugezaako okwagala okumukwata, Nsimenta adduse n’ayingira emotoka ekika kya (IPSUM)ebadde emulindiridde ku bbali w’ekkubo n’abulawo nga n’okutuusa kati akyaliira ku nsiko.
Ssentebe W'ekyalo Kino Kephas Mubiru Bwe Yabadde Ng'annyonnyola.
Kigambibwa nti bano babadde bateekateeka na mikolo gya kwanjula mu bbanga eritali lya wala.
Kephas Mubiru ng’ono ye ssentebe w’ekitundu kino annyonnyodde ng’embeera eno bw’eyolesse okuggulira ekkubo ly’obumenyi bwa mateeka obubadde bwakendeerera ddala okutuuka ku bitundu 80 ku 100 n’asaba abafumbo okweyambisanga obukiiko bw’ebyalo okugonjoola obuzibu wakati waabwe.
Amyuka akulira abakyala ku lukiiko lw’ekyalo kino Barbara Namusisi asabye abafumbo naddala abakyala okwewala okukola okusalawo olw’obusungu obungi bwe babeera nabwo naye n’abakuutira okubeeyambisa okubayamba mu mbeera ng’eno.
No Comment