omubbiMmengo eyisizza bajeti ya buwumbi 305

Jun 17, 2025

MMENGO eyisizza embalirira y’Omwaka 2025/2026 nga ya kuwemmenta 305,502,820,947/-.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

MMENGO eyisizza embalirira y’Omwaka 2025/2026 nga ya kuwemmenta 305,502,820,947/-.
Eno yasomeddwa, omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa mu lutuula lw’Olukiiko olwatudde eggulo e Bulange nga lwakubiriziddwa Patrick Mugumbule.
Ensimbi zino zisuubirwa okufunibwa okuva mu gavumenti eya wakati egenda okusasula ku bbanja eri Obwakabaka n’obuwumbi 38, Envujjo-Busuulu-n’Ekkanzu ku ttaka obuwumbi 36, ebisale okuva mu bayizi obuwumbi 26,495,376,850/-.
Bannamikago basuubirwamu obuwumbi 73, Abanywanyi obuwumbi 10, Ebyemizannyo, Abavubuka n’Ebitone 2,055,000,000/-, Mmwaanyi Terimba Ltd obuwumbi 14, Oluwalo n’ebirala ebikolebwa Majestic Brands obuwumbi 8, ebyobulambuzi 1,228,797,800/-, Ebyempuliziganya n’Amawulire obuwumbi 19, BUCADEF 356,000,000/-, Obwegassi obuwumbi 72, ensimbi ezikung’aanyizibwa mu masaza 8,211,628,004/-, ensimbi ezikung’anyizibwa okuva mu butale bwa Kabaka 550,600,000/- n’ebirala bingi.
Embalirira eno eri wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Okusembeza omuvubuka mu kuteekateeka n’okussa mu nkola Pulogulaamu z’Obwakabaka okuziganyulirwamu awamu”. Guno gulaga ebyo ebigenda okukolebwa.
1 Okutendeka abavubuka obuyiiya n’okukola emirimu :
Etunuulidde okuzimba eggye ly’abavubuka abakugu ate abayiiya okubeera n’obusobozi obukola ensimbi ezinaatumbula enkulaakulana yaabwe.
“Tugenda kutendeka abavubuka 5,000 buli mwaka mu ttendekero lyaffe erya ‘Buganda Digital hub’, mu kukozesa ebyuma bi kalimagezi okukola emirimu egy’ekikugu n’okutumbula obuyiiya,” Waggwa bwe yagambye.
Okuyita mu nteekateeka eyitibwa ‘Akacupa’ nazo ssente, abavubuka bagenda kwenyigira mu mulimu gw’okulondalonda obucupa obuddamu okukolebwamu ebintu ebirala. Buli kkiro ya kasasiro w’obuveera ya 500/- era buli kusasula kujja kuyitiranga ku ssimu.
Obwakabaka bugenda kutendeka abavubuka 10,000 mu Masaza ku ndabirira y’emmwaanyi.
2 Ebyenjigiriza :
Enkuza n’endabirira y’abaana abato abatandikirwako mu by’ensomesa eteereddwaako essira ng’amasomero 20 gagenda kutandikibwawo okwegatta ku 11 agaatandikibwa omwaka oguwedde.
Ekizimbe gaggadde kigenda kuzimbibwa ku ttabi lya Muteesa I Royal University e Kakeeka n’okulaba ng’abayizi beeyongera mu ttendekero lino waakiri 3,000 buli mwaka. Ebizimbe ebirala bigenda kuzimbibwa ku Lubiri HS e Buloba, ettabi ly’e Mmengo nga buli kimu kisuza abayizi 1,000. Ekizimbe ky’ebitanda 500 kya kuzimbibwa ku Bbowa Vocational Institute e Bulemeezi. Bino bitereddwaamu obuwumbi 25.
3 Okunyweza ebibiina by’obwegassi ne SACCO kuteereddwaamu obuwumbi 77, Okutumbula ebyobulamu n’okutondawo enteekateeka za Yinsuwa ez’enjawulo biteereddwaamu 6,399,000,000/-.
4 Eby’obulimi n’Amakolero wansi wa Pulogulamu y’Emmwanyi Terimba : Mu nteekateeka eno, pulaani y’okuzimba ekkolero ly’emmwaanyi zaawedde nga Kabaka yawadde kkampuni ettaka lya yiika ssatu e Nakisunga - Kyaggwe ku liizi ya myaka 99. Enkola y’okulimisa tulakita egenda kwongerwamu amaanyi ng’abantu bazipangisa okuzikozesa.
5 Ebirala ebigenda okukolebwa kuliko okutumbula obuwangwa, ennono n’obulambuzi, okukuuma n’okulabirira ettaka n’obutonde bw’ensi, okuwagira enteekateeka z’ebyamawulire n’okukunga abantu abali mu Uganda n’ebweru, okusiga ensimbi mu pulojekiti ez’omuzinzi n’okuvujjirirwa Bannamikago.
Ensimbi eziteereddwa ku kunyweza Nnamulondo; Emirimu gya Nkuluze 21,478,830,600/, Okulabirira ofiisi ya Kabaka 701,850,000/-, Okuzimba embiri okuli Kireka ne Bamunaanika n’endala 4,817,713,900/-, Okumaliriza amasiro g’e Kasubi 500,000,000/-, Okuddaabiriza Twekobe n’okulabirira olubiri lw’e Mmengo 1,055,995,103/-, Okuddaabiriza Butikkiro (omutendera ogw’okubiri) 350,000,000/-.
OBUBAKA BW’AKATIKKIRO
Wadde embalirira eno eri mu buwumbi 305 okuva ku y’omwaka oguwedde eyabadde ey’obuwumbi 257, Katikkiro Charles Peter Mayiga yasabye Abaganda baleme kusanyuka nnyo nti, erinnye kuba ekyali ntono bw’ogeraageranya n’obungi bw’emirimu egyetaagisa okukolebwa.
Mayiga yategeezezza abakiise nga Kabaka Mutebi II eyagenda e Bulaaya nga June 5, 2025 bwali mu mbeera ennungi era ng’ekiseera kyonna abasawo bwe banaamaliriza okumwekebejja ng’akomawo.
Nga July 31, 2025, Obuganda bwakujaguza emyaka 32 egya Kabaka ng’alamula Obuganda. Emikolo gy’Amatikkira gya kubeera ku muzikiti omukulu e Kibuli.
Mayiga yayanjulidde abakiise Kisekwa omuggya Dr. Robert Ssonko n’olukiiko lwe, Ssentebe w’Olukiiko lw’abavubuka Ttabamiruka mu Buganda Derrick Kavuma n’olukiiko lwe, era olutuula luno lwetabiddwaamu ababaka ba Palamenti abakiikirira ebitundu bya Buganda omwabadde; Dr. Lulume Bayiga, Joyce Baagala, Robert Ssekitooleko, Allan Mayanja Ssebunnya, Yusuf Nsibambi, David Kaalwanga ne Hanifah Nabukenya.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});