EKLESIA y'Abasodokisi mu Uganda esabidde emirembe okubukala mu ggwanga n'okuyita obulungi mu kalulu kaabonna ak'omwaka guno akangedde.
Okusaba kuno kwabadde ku Lutikko y’Omutukuvu Nicholas e Namungoona ku lwa ssande nga kwakulembeddwamu Ddiini wa Lutikko eno, Fr. Dr. Nicholas Bayego n'asaba Katonda alungamye ab'ebyokwerinda , bakwate bulungi Bannayuganda.
Bannayuganda bagenda kukkira obubokisi okulonda abakulembeze omwaka guno nga batandika n'okulonda Pulezidenti nga January 15,2026.
“Tusabira emirembe nga tulonda waleme kubeerawo abatabangula, ababbi, n’abaserikale abakuba abantu wadde bannamaggye wabula abantu bonna okubeera ab’emirembe,” Fr. Bayego bweyasabye.

Abakkirizza nga bali mu kusaba
Fr. Bayego era yasabidde obusasizi, obulokozi n’okuggyibwako ebibi kw’abantu ba Uganda, okwagalana, okwolesebwa kw’omwoyo gw’eggwanga mu kiseera kino era n’asaba abantu baleme kuggya Katonda mu nteekateeka eno.
Mu mmisa eyasoosewo, Amyuka Ddiini wa Lutikko eno, Fr. Stellios Kasule yasabye amaggye ne Poliisi okubeera abeegendereza nti wadde bakolera ku biragiro bya bakama baabwe naye basaanye okugenderera bikolwa by'okukuba Bannayuganda n’efujjo kubanga oli asobola okuvunanibwa ng'omuntu.
Fr. Kasule yakunze abakkiriza okugenda mu bungi okulonda abakulembeze baabwe nga buno bwebuli obuvunanyizibwa bwaabwe eri eggwanga