Ssentebe wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, aweze okufaafagana na buli analeeta akacankalano mu kalulu ka muzeeyi ku lw’okuna nga 15 January.
Alabudde abavubuka naddala ab’oludda oluvuganya gavumenti nti, balekere awo okutiisatiisa abalonzi naddala aba NRM n’abo abakyuka okugyegattako, nti kubanga lino eggwanga lirimu eddembe ne demokulaasi era buli mulonzi mukulu ekimala okusalawo ani gwalonda tekyetaagisa kubatiisatiisa.

Majembere ng'ayogera
Abadde asisinkanye b anna NRM ab'enjawulo e Lubaga omuli; abavubuka, ba ssentebe ba NRM ku byao byonna mu Lubaga, n'abawagizi ba NRM ab'enjawulo okubakunga okugenda mu bungi okulonda ate nabo okukunga bannaabwe okukeera mu bungi okulonda ku lw’okuna nga 15, Jjajja mwami asobole okuwangulira waggulu mu Kampala.

Majambere wakati ngasala dance ne ba nna NRM
Agamba nti guno ssi muzannyo, nti era kuluno ayagala awakanye Kyagulanyi byagenda agamba nti, mu Kampala teri amusinga buwagizi, naawera nti NRM kuluno erina okuwangula akalulu wano e Lubaga ne Kampala yonna.
Naalabula bonna abanaagezaako okutiisatiisa abantu mu by'akalulu kano nti anaakwatibwako kajja nkumujjutuka.

Majembere ng'alaga ekigalo kya Nrm
Naasaba abalonzi okukuuma emirembe, beewale okubeera awalonderwa mu bungi bwebamala okulonda buli omu adde awakaawe, eby'okukuuma akalulu babirekere akakiiko keby'okulonda n’abakuuma ddembe, ebinavaamu babirabire ku TV