Ssanyu ; Bwe mbeera awaka omwami wange mmuwa 'Full ddoozi' n'atajula
Jun 21, 2023
Wandiba ng’oli muganda w’omuyimbi Irene Namatovu...Simulinaako kakwate okuggyako okunyumirwa ennyimba ze.
By Musasi Bukedde
Journalist @New Vision
Wandiba ng’oli muganda w’omuyimbi Irene Namatovu...
Simulinaako kakwate okuggyako okunyumirwa ennyimba ze.
Ng’oli ku bwangu, odda wa?
Nzira waka, obudde bung'enzeeko.
Yiiyi, olinga agamba nti gy’olaga bagenda kukuvunaana ng’otuuse kikeerezi?
Okuva e Kampala okudda e Maya, weetaagawo essaawa nnamba. Saagala jjaamu kunkwatira mu kkubo.
Tobeera nneyiba wange nga simanyi. Kitundu ki e Maya wennyini w’olaga?
Maya ku 13.
Awo wennyini we nakulira ng’ebintu tubigula ku dduuka lya Muzeeyi Dimirire?
Hoo.. oyo mmumanyi.
Ku Maya okolerako mirimu ki?
Okwo kwe nafumbirwa naye kati nassaawo akaduuka akatunda ebintu ebikozesebwa awaka.
Okola ki ekirala, nga toli mu kaduuka ko?
Nzannya emizannyo ne ffirimu
Ozannyira mu kibiina ki?
Mu Pearl Screen Pictures Uganda.
Mizannyo ki gye wali ozannye?
Bisirikirwa, Tebeesigwa, Linda My Daughter, Life After School, Eddaame Lya Mutaawe n’emirala.
Nga mingi bulala?
Anti n’emyaka omwenda gye mmaze nga nzannya si mitono.
Wandiba ng’ebitundu by’obukambwe by’osinga okuzannya?
Ate ndi mukyala mwangu.
Lunaku ki lw’otosobola kwerabira mu kuzannya emizannyo?
Olunaku lwe nazannya ne munnange ng’ananaagira. Yalina okunkubanga empi mukaaga, okufulumya ekigambo kimu bwe kiti kyokka nga binnumira ddala era twagenda okufuluma omuzannyo ng’omubiri gulungudde.
Kapya ki k’oliko?
Ndi mu muzannyo oguyitibwa ‘Ndikibuulira Ani’ era nzannya ne mu mizannyo emirala egiri mu butabo, obusomebwa abaana ba siniya okuli; Amaggwa n’emitego mu Muvubuka akasomebwa abaana ba ‘O level’ ne Agamyuka omutezi ogwa ‘A level’.
Olwo Hajji omuwa ddi obudde?
Buli kimu nkiwa obudde bwakyo, Bwe mba awaka, omwami mmuwa ‘full dose’ n’atajula.
Omwami bw’akulaba ku siteegi nga bakukutte mu kiwato awulira atya?
Akimanyi nti biri tuba mu ffirimu era ampagira nnyo okukuza ekitone kyange.
Singa obadde waakumuweereza kayimba kaliwa akamukolera?
I will love you every day aka Bebe Cool.
Bwe mba njagadde okuzannyako naawe ffirimu nkole ntya?
Onkubirako ku 0777057485 ne twogera ku bya ffirimu byokka.
N’erinnya lyo limpe
Nze Sumayah Ali Nampijja
No Comment