Munnamukutu (TikToker) ayiiyizza okufa kwe n’ategeka n’olumbe ng’alowooza tasiimibwa

Jun 21, 2023

Bw’oba obubadi obadde obumanyi mu bayimbi ba Uganda, abeerwanya nga baagala okutunda ebivvulu byabwe oba mu bannabyafuzi abeewamba naye ne ku mikutu gya 'sosolomidiya' nayo bw’atuuka dda.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Daphine Nakalyoowa Semakula

Bw’oba obubadi obadde obumanyi mu bayimbi ba Uganda, abeerwanya nga baagala okutunda ebivvulu byabwe oba mu bannabyafuzi abeewamba naye ne ku mikutu gya 'sosolomidiya' nayo bw’atuuka dda.

Wuuno munnamukutu (TikToker) eyayiiyizza okufa kwe n'ategeka n'omukolo gw'okuziika kwe oluvannyuma lw'okulowooza nti tasiimibwa bawagizi be wamu n'abenganda ze.

David Baerten ow'emyaka 45 yagambye nti yabadde ayagala kulaga abo abamwagala nti tebalina kumulinda kufa olwo balyoke bakuluumulukuke nti bazze kumuziika.

Enteekateeka yatandikidde ku kumatiza mikwano gya Baerten ne ffamire ye nti afudde.

Muwala wa Baerten ye yasoose mu kazannyo kano n'alyoka asaasaanya amawulire g'okufa kwa kitaawe ku  Facebook , okusinziira ku mawulire ga Times UK:

''Wummula mirembe taata, sijja kulekera awo kukulowoozaako," muwala we bwe yawandiise okusinziira ku Times UK. "Lwaki obulamu si bwa bwenkanya? Lwaki? Obadde ogenda kubeera jjajja, era ng'obulamu bwo bukyali buwanvu. Nkwagala! Tukwagala! Tetujja kwerabira."

Oluvannyuma lw'okukakasa mikwano gya Baerten n'ab'eŋŋanda ze nti afudde, yatandise ( Baerten) okutegeka okuziika kwe.

Ku mukolo ogwabaddewo wiikendi ewedde ebweru w'ekibuga Liège ekya Bubirigi, ekibinja ky'abakungubazi baagenze okujaguza obulamu bwa Baerten. Ekibinja kino nga kikyandirira omukolo okutandika, ennyonyi ey'ekika kya nnamukanga yabuuse mu bbanga n'egwa mu nnimiro okumpi n'awadde omukolo gw'okuziika.

Abakungubazi Mu Lumbe. Ate Ku Ddyo Ng'omusajja Awambatidde David Baerten

Abakungubazi Mu Lumbe. Ate Ku Ddyo Ng'omusajja Awambatidde David Baerten

Awatali kulabula, aba kkamera baavudde mu nnyonyi nga bali wamu n'omuntu gwe baali batasuubira: David Baerten yennyini, abakungubazi ne bawunga.

Okusinziira ku lupapula lw'amawulire oluyitibwa Times UK, Baerten yayaniriza abantu ku lumbe lwe,  n’aleka abantu nga basobeddwa.

Abamu ku baabadde ku lumbe badduse gyali nga bakaaba abalala nga baagala okumuwambatira ate abalala ne basigala we baabadde pakakinze emmotoka nga bawuniikiridde.

Ouvannyuma lwa vidiyo eno okuteekebwa ku TikTok, omuntu omu yawandiise nti, "Otufunye, n’ayira nti bannange nfunye ekigangabwa eky'amaanyi ne nkaaba mu butuufu mukwano gwaffe tukwagala nnyo."

Abalala tebaasanyuse nnyo nga bagamba nti kano akabadi ka Baerten ka kisiru nnyo era tekasaana .

"Kati tumanyi lwaki abantu tebamwagala," omu ku bagoberezi bwe yawandiise mu bigambo. Abantu abalala abaabadde bagamba nti ekikolwa kino kyabadde kya "bukambwe" ate nga "tekyetaagisa."

Wabula Baerten oluvannyuma yakkirizza nti yandibadde takola kabadi kano.

"Bwe natandika okufuna obubaka okuva mu bantu ne vidiyo zaabwe nga bakaaba,  nnali njagala okusazaamu akabadi kano naye ng'obudde buweddewo. Nneebuuza, 'Kiki kino ky'enkoze Baerten?' naye kyali kiwedde," Baerten bwe yategeezezza okusinziira ku Indy100.

"Nsaba ekisonyiwo eri abantu bonna be nnalumiza kubanga saagala kulumya abantu,'' bwe yeetonze.

Yawadde ensonga eyamukozesezza kino bwati: "Bye ndaba mu ffamire yange binnuma, siyitibwa ku mukolo gwonna. Tewali n'omu andabawo. Ffenna twayawukana buli omu ali ku lulwe. Nze ndaba nga sisiimibwa," Baerten bwe yategeezezza olupapula lw'amawulire oluyitibwa New York Post . "Eno y'ensonga lwaki nnayagadde okubawa ekyokuyiga mu bulamu n'okubalaga nti tolina kulinda muntu kufa ne mulyoka mukuluumukuka ne mumwogerako ebirungi ebyereere."

 

 

 

 

 

 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});