Dokita Ssali alaze satifikeeti ezaamuweebwa aba NDA

Jun 29, 2023

DOKITA David Ssali owa Darma Medicinal Herbs alaze satifikeeti ezaamuweebwaab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority(NDA).

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Samuel Balagadde

DOKITA David Ssali owa Darma Medicinal Herbs alaze satifikeeti ezaamuweebwa
ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority
(NDA), ssaako eyamuweebwa minisitule y’ebyobulamu nga zimukkiriza okukozesa
eddagala lye okujjanjaba ne yeebuuza lwaki ate aba NDA, baamuzinze ne bamuwalaawala okumutuusa ku poliisi ya CPS gye baamugguddeko emisango.

Dokita Ssali baamukutte ku Mmande mu kikwekweto ekyakoleddwa aba NDA
nga bamulanga okugaba eddagala nga talina lukusa.

Baazinzeeko eddwaaliro lye erisangibwa ku Seroma Shoppers Stop Plaza mu Kampala, oluvannyuma lw’akatambi okusaasaana ku mikutu migattabantu nga Ssali ategeeza nti obutungulu buwonya akawuka ka siriimu.

Omwogezi w’ekitongole kya NDA, Abias Rwamwiri yagambye nti Ssali yakwatiddwa
olw’okwenyigira mu kugaba eddagala, okujjanjaba abantu nga talina lukusa n’okufulumya obutambi obuwubisa abantu nti ajjanjaba siriimu.

Yagasseeko nti NDA erudde ng’erabula dokita Ssali okukomya okwenyigira mu by’okweranga nga bw’ali omusawo kuba talina layisinsi emukkiriza okujjanjaba
kyokka n’asigala ng’agenda mu maaso.

Yagambye nti Ssali baamugguddeko emisango okuli; okubeera n’eddagala ly’atakkirizibwa kujjanjabisa n’okujjanjaba nga talina lukusa era balinda kumutwala mu kkooti avunaanibwe.

Wabula Dokita Ssali eyasangiddwa ku ddwaaliro lye ku Lwokusatu yategeezezza
nti ekitongole kya NDA kyamuwa satifikeeti.

Yagambye nti aba NDA ne minisitule y’ebyobulamu bamumanyi bulungi era erimu ku ddagala ly’akola lyakakasibwa ekitongole kye kimu ekyamukutte.

“Ekyankwasa kwe kugamba nti obutungulu busobola okuweweeza obulwadde bwa siriimu, naye nze ndaba ekyo si kye kinene ekituusa okunkwasa mu ngeri gye bankwatamu kubanga nabwo bulina amaanyi gaabwo,” Dr. Ssali bwe yagambye.

Yagambye nti emirimu gy’akola gimanyiddwa ebitongole eby’enjawulo okuli n’ekya The African Solution for African Challenges (THETA) nga yatandika okujjanjaba mu 2006.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti Ssali yakwatiddwa n’atwalibwa ku poliisi ya CPS, wabula n’ateebwa ku kakalu kaayo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});