BUKEDDE W’OLWOKUSATU ALIMU EBIKULU BINO BY’OTOLINA KUSUBWA

Tukulaze engeri Nnamwandu wa Aponye gye yayambalidde eyeeyise mutabani w’omugenzi.

BUKEDDE W’OLWOKUSATU ALIMU EBIKULU BINO BY’OTOLINA KUSUBWA
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

BUKEDDE W’OLWOKUBIRI ALIMU EBIKULU BINO BY’OTOLINA KUSUBWA

Tukulaze engeri Nnamwandu wa Aponye gye yayambalidde eyeeyise mutabani w’omugenzi.

Mulimu Mabirizi ng’alemedde ku Pasita Lule ku bya DNA.

Akafubo ka Biden owa America ne mukulu munne owa Turkey katabudde Putin nga kati ali mu kutakula mutwe.

Poliisi ekutte ekibinja ky’abavubuka abateega Bannakampala ne babanyaga. 

Tosubwa ebyabadde mu nsisinkano ya Pulezidenti n’abakulembeze b’Abasiraamu.

Mu Yiiya Ssente: Tukulaze eby’okusima amafuta bwe byeyongedde okuvaamu ebibala.

Mu byemizannyo: Tosubwa engeri ManU gy’esenvudde ku by’okukansa omukwasi wa ggoolo Andre Onana. Tukugattiddeko ne Moses Golola ng’awanda muliro ku baagala okusaanyaawo omuzannyo gw’ensembaggere.

Gano n’amalala mu Bukedde w’Olwokusatu, akulaga emikisa gy’okukola ssente.