Ponsiano Nsimbi ne Ali Wasswa
Eyeeyita mutabani w'omugenzi Aponye aleese bwiino ku kitaawe ne nnyina n'akaatiriza.
KAYUMBU ANNYONNYOLA
Bruce Kayumbu yategeezezza nti olwafunye amawulire g’okufa kwa kitaawe, yasitukiddemu okuva e Masindi gy’abeera okutuuka e Lubowa okwetaba mu lumbe lwa kitaawe era yatuukiridde baganda be okuli; Byamugisha okumubuuzaako n’abalala kyokka yeewuunyiza okulaba nga bwe baatuuse okwanjula bamulekwa ye baamulese ebbali ate ne bateekawo n’akakwakkulizo ku muwendo gwa bamulekwa.
Kayumbu y’omu ku bakungubazi abeetabye mu Mmisa e Lubaga okusiibula kitaawe kyokka yadde baamulekwa baabadde banekedde mu ngoye ezifaanagana ye yabadde yeefaanana yekka.
Ono yannyonnyodde nti ye mwana wa Aponye omukulu era yazaalibwa Peace Musinguzi omutuuze w’e Muhanga Rukiga.
Yagambye nti kitaawe yali amuweerera kyokka n’alekera awo, ekyamuviirako obutasobola kusoma kumalako nga yakoma mu S2, era wano ennaku gy’alimu we yatandikira.
Bwe yabuuziddwa obuzibu we bwava, yategeezezza nti waliwo obutakkaanya wakati wa famire ya nnyina ne Aponye olw’enjawukana mu ddiini.
Yagambye nti jjajjaawe azaala nnyina yali Mubuulizi mu Kkanisa era olwakitegeera nti omusajja afunyisizza muzzukulu we olubuto Mukatoliki n’anyiiga nnyo n’amugaana okumufumbirwa.
Ono yagambye nti bwe yamala P7, nnyina yamutwala ewa kitaawe (Aponye) asobole okumuweerera mu siniya kyokka olw’okutya okunyiiza mukyala we ow’empeta, Aponye yamutwala ewa jjajjaawe Solome Kibatenga e Muhanga kyokka yamuwa obuyambi okutuusa mu S2. Jjajjaawe bwe yafa embeera n’emutabukako n’asalawo okuva mu maka gano.
Yagambye nti mwetegefu okutwalibwa ku musaayi okuggyawo ebigambibwa nti yandiba nga waliwo abamuli emabega okuswaza famiire ya Aponye.
MAAMA WA KAYUMBU ANNYONNYODDE
Peace Musinguzi, maama wa Kayumba, yategeezezza nti Aponye yamufunyisa olubuto ku myaka 16 ng’ali mu P7 n’azaala omwana ono kyokka olw’okuba jjajjaawe yali mubuulizi yamugaana okufumbirwa omusajja atali Mukristaayo ekyanyiiza Aponye n’amukyawa n’omwana we era n’agaana okubawa obuyambi.
Yagambye nti Kayumbu yamuzaala mu 1978, ekitegeeza nti ono kati alina emyaka 45.
Aponye aziikwa leero e Muhanga.