Amyuka omukwanaganya w’enkola ya PDM mu ggwanga, Jovelyn Kaliisa Kyomukama, alagidde bassentebe b’ebyalo okwenyigira obutereevu mu kulambula n’okukakasa nti ddala omutuuze abeera alondeddwa okuganyulwa mu nkola eyo y’asaanidde.
Enkola ebaddewo, ssentebe wa LC II y’abadde akakasa ababadde baaweebwa
ensimbi zino. Bino Kaliisa yabirangiriridde Kasangati n’ayimiriza okugaba ssente
zino mu kitundu okutuusa ng’alabye bonna abaaweebwa ku ssente zino n’okutereeza emivuyo gyonna gye yazze azuula mu nkola eno.
Mu mivuyo gye yazudde mwabaddemu n’eyeeyita omukozi w’amaka g’Obwapulezidenti era ono yalagidde asibwe.
Yatuuseeko mu muluka gw’e Gayaza, abaayo ne bamusaba abagambire Pulezidenti
okwongera ku ssente akakadde akamu ze babawa kuba ebirowoozo bye balina
mu kuzikozesa bisukka ku kakadde. Yawabudde abaweebwa ssente nti balina kuzikozeseza mu muluka gwennyini mwe beewandiisiriza sso si kuzikozeseza walala.
Yazudde ng’abaweebwanga ssente tebaalinanga babasemba kye yagambye nti
kikyamu.
Yazudde nti abavubuka 23 ku bantu 60 be baaweebwa ssente n’agamba si waakuddamu kusindika ssente nga tasoose kulaba ku baaweebwa ssente zino