Stecia Mayanja alondeddwa ku bwapulezidenti bw’ekibiina ky’ebyobufuzi

OMUYIMBI Hajjati Stecia Mayanja agudde mu bintu, bw’alondeddwa ku bwapulezidenti bw’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Peasant Party (NPP).

Stecia Mayanja (wakati) eyalondeddwa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUYIMBI Hajjati Stecia Mayanja agudde mu bintu, bw’alondeddwa ku bwapulezidenti bw’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Peasant Party (NPP).

Yalondeddwa mu lukuhhaana ttabamiruka olw’ekibiina kya NPP olwatudde e Nansana nga lwetabiddwaamu bammemba nga 100 e Nansana. Yazze mu bigere bya Elias Wamala Segujja, omu ku batandisi b’ekibiina kino era abadde pulezidenti waakyo okuva mu 2004 lwe kyatandikibwawo.

Olumaze okulayira, Stecia n’alangirira nga bw’agenda okukamula Pulezidenti Museveni entuuyo mu kalulu ka 2026 n’abalala abagenda okwesimbawo okuli ne muyimbi munne Bobi Wine (Robert Kyagulanyi Ssentamu). “Njagala okuleetawo enjawulo mu byobufuzi by’eggwanga lino kuba nze hhenda kubeera ku mulamwa omutuufu ogulwanirira omuntu wa bulijjo,” Stecia bwe yagambye.

Yayongeddeko nti agenda kulagawo enjawulo wakati we ne Bannabyabufuzi abaliwo era waakulwanirira obwenkanya eri omuntu wa bulijjo. “Nze nzize kulwanirira muntu wa bulijjo era owa wansi era nsaba Bannayuganda banneegatteko,” Stecia bwe yakubidde. Ekibiina kino abawagizi baakyo bambala langi emmyuufu ng’eza NUP ne UPC.

Stecia aludde mu kisaawe ky’okuyimba nga yasookera mu Eagles Production oluvannyuma bwe yasattulukuka n’agenda mu Golden Band. Gye buvuddeko yagendako ku kyeyo e Canada kyokka bwe kyamunyiga n’akomawo wano n’akola n’ekivvulu ku Serena.