MUWALA wa Hajji Obeid Lutale, eyaggalirwa mu kkomera ne Dr. Kizza Besigye ow’ekibiina kya PFF yeesozze ebyobufuzi nga yeemulugunya nti ffamire ye enyigiriziddwa nnyo lw’amateeka amabi agaliwo.
Mariam Obeid Lutale nga munnamateeka mu Kampala, yeewandiisizza mu kibiina kya Dr. Besigye ne loodi Mayor Erias Lukwago avuganye ku kifo ky’obubaka bwa palamenti omukyala owa Kampala.
Yaggyeeyo empapula ku Mmande. Yayaniriziddwa abanene mu PFF abaakulembeddwa akulira akakiiko k’ebyokulonda, Micheal Kabaziguluka.
Ekifo kino kirimu Shamim Malende owa NUP kyokka abakyagala mu kiseera kino, bawera okuva mu bibiina eby’enjawulo.