Ayagala obwakansala e Mutungo asuubizza

AKIM Akibuwa eyeesowoddeyo okuvuganya ku kifo ky’obwakansala akiikirira ab’e Mutungo zooni 11, 12 ne 13, asuubizza okutuusa obuweereza obulungi eri abantu.

Akim Akibuwa (akutte akazindaalo) ng’ayogerako eri abatuuze b’e Kitintale
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AKIM Akibuwa eyeesowoddeyo okuvuganya ku kifo ky’obwakansala akiikirira ab’e Mutungo zooni 11, 12 ne 13, asuubizza okutuusa obuweereza obulungi eri abantu.

Akibuwa owa NUP, bino yabyogedde atalaaga ekitundu kino ng’abeebuuzaako ku bibasoomooza. Abatuuze baamuloopedde emyala egibooga ate Moris Keyari, omutuuze mu kitundu kino yakukkulumidde abakulembeze abalondebwa ne batadda kumanya bizibu binyigiriza bantu omuli kasasiro n’ebbula ly’emirimu naddala mu bavubuka. Akibuwa yabasuubizza okukola ku nsonga ezibaluma.