Nantaba awaguzza n’asisinkana Pulezidenti

OBUGENYI bwa Pulezidenti Museveni e Kayunga okutongoza oluguudo lwa Kayunga - Bbaale - Ggaliraayi, bwattusizza obukuku bwa bannabyabufuzi abatalima kambugu naddala omubaka omukyala owa disitulikiti, Idah Erios Nantaba ne ssentebe wa NRM mu disitulikiti, Moses Karangwa.

Nantaba n’abawagizi be ng’abaserikale bagezaako okubakugira okuyingira mu kifo owaategekeddwa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OBUGENYI bwa Pulezidenti Museveni e Kayunga okutongoza oluguudo lwa Kayunga - Bbaale - Ggaliraayi, bwattusizza obukuku bwa bannabyabufuzi abatalima kambugu naddala omubaka omukyala owa disitulikiti, Idah Erios Nantaba ne ssentebe wa NRM mu disitulikiti, Moses Karangwa.

Nantaba yayungudde ekibinja ky’abawagizi be okwetaba ku mukolo ogwabadde ku kisaawe ky’essaza e Kayunga, Pulezidenti we yabadde alina okusisinkanira abakulembeze. Wabula Nantaba yalabye ng’abawagizi bangi ate ng’abamu bagaaniddwa okuyingira ekifo awaabadde emikolo, n’afuna ‘pulaani B’.

Yawaguzza n’abambusa e Busaana era Pulezidenti n’ayogera nabo. Nantaba yaloopedde Museveni nga bwe yabadde tateekeddwa ku pulogulaamu yaakwogera n’agattako nti abamu ku bano abamulemesa be babbi b’ettaka mu Kayunga.

Embeera mu bannabyabufuzi naddala abo abeegwanyiza ebifo eby’enjawulo ku kaadi y’ekibiina kya NRM yabadde ya bunkenke na kutuula bufoofofo era Amos Lugoloobi, omubaka wa Ntenjeru North era minisitule omubeezi ow’ebyensimbi eyabadde kalabaalaba w’omukolo gwonna, bannabyabufuzi yabawadde omukisa okweyogerako nga Pulezidenti tannatuuka.