BANNADDIINI ab’enzikiriza za Kristo bavumiridde ensala ya kkooti eyakkaatiriza eky’abasajja okuwasa abakazi abangi ne balaga obulabe obukirimu.
Akulira emirimu gy’Obutume mu Ssaza ekkulu erya Kampala, Fr. Ambrose Bwangatto yagambye nti; Mu lubereberye, Katonda yatonda omusajja omu n’omukazi omu, ekitegeeza nti, eno ye yali pulaani ye okuva mu kusooka era Ekleziya tesobola kugivaako, era mu ndagaano empya Bayibuli egamba nti, omusajja alireka bazadde
be n’agenda abeere ne mukyala we so si bakyala be.
Wabula ttabbu evudde ku mulugube, amaddu n’endowooza y’abantu mu nsi, ng’abasajja baagala okwesanyusa bokka awatali kufa ku muntu mulala yenna, ne batandika okuleetawo ensonga z’okwewolereza bo basigale nga banyumirwa.
Ekleziya efaayo nnyo ku maka kubanga mwe mukulira abaana ate abaana ye Kleziya ey’enkya. Omuntu talinga kisolo. Embuzi gye baazadde ku makya akawungeezi ebeera edduka, ekitali ku muntu, ekitegeeza nti, omuntu yeetaaga okulabirirwa
okw’enjawulo n’okulung’amizibwa okutuuka lw’akula n’atuuka okwesalirawo.
Mu bufumbo obw’abakazi abangi, omusajja tabeera na budde butuukiriza buvunaanyizibwa bwe nga taata eri abaana.
Akulira eby’abaana mu kkanisa ya Uganda, Rev. Richard Rukundo yagambye nti, ekkanisa tekkiririza mu bufumbo bwa bakazi bangi, kubanga ne Katonda tabwagala. Wabula amateeka mangi agatufuga mu ggwanga tegalina mirandira mu Bukristaayo,
oba mu Busiraamu, ekireese vvolongoto afaanana bw’ati mu ggwanga. Omusumba Simeon Kayiwa owa Namirembe Christian Fellowship, yagambye nti, obufumbo bw’abakazi abangi ne bw’obuwolereza otya tebusobola kufuuka bulungi era ababuwagira mbawa amagezi okudda ku nnono za Bayibuli, era omuntu akkiririza mu
Kristu tabeera na bakazi bangi.
Yalumirizza nti, obufumbo buno buleeta obulumi mu myoyo gy’abakazi kubanga, kuba akafaananyi ng’abantu beefuna bavubuka, kyokka bwe batuuka mu myaka 50 omusajja n’asuulawo munne n’agenda awasa omukazi omulala! Kati mu mbeera eyo, omukazi akole atya? Naye afune abasajja abalala? Embeera eno ekulaga nti, ekintu bwe kiba kibi tetusaana na kukimalirako budde.