POLIISI erabudde abeesimbyewo mu by'obufuzi, okugondera ebiragiro ebyassibwawo akakiiko k'ebyokulonda nga beewandiisa n'okukuba enkung’aana.
Kino kiddiridde enteekateeka ey’abeesimbyewo ku gavumenti ez'ebitundu , okutandika okwewandiisa n'okuggyayo ffoomu nga Sept 3 okutuukira ddala nga Sept 5 omwaka guno.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, alabudde nti abo bonna abateekateeka okwesimbawo , okugondera ebiragiro ebyassibwawo akakiiko k'ebyokulonda, omuli okwewala okutambula n'eggaali, okwewala olulimi oluvuma, oluwemula n'okulengezza.
Agasseeko nti balina okugondera amateeka ag’oku nguudo, okwewala okutaataaganya abantu abalala abakozesa amakubo, obutamala gakuba nkung’aana mu ngeri emenya amateeka n'okugondera ebiragiro by'abakuumaddembe.