Owa NRM yeepikira kusuuza NUP bwammeeya bw’e Kawempe

OLWOKAANO lw’ebyobufuzi mu Munisipaali y’e Kawempe lweyongeddemu ebbugumu, Munna NRM, Eric Katende Nkakaasi omusomesa omutendeke bwe yeesozze olwokaano. Katende agamba nti ekimuleese, kwe kukomyawo obuwagizi bw’ekibiina kye mu kitundu kino obuludde nga bwatwalibwa ab’oludda oluvuganya.

Katende
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OLWOKAANO lw’ebyobufuzi mu Munisipaali y’e Kawempe lweyongeddemu ebbugumu, Munna NRM, Eric Katende Nkakaasi omusomesa omutendeke bwe yeesozze olwokaano. Katende agamba nti ekimuleese, kwe kukomyawo obuwagizi bw’ekibiina kye mu kitundu kino obuludde nga bwatwalibwa ab’oludda oluvuganya.

Katende ng’ayita mu kibiina kye ekya ‘Jesus is Lord Business’, y’omu ku bawagizi ba NRM enzaalwa y’omu kitundu, amaze ebbanga ng’akunga abavubuka mu Ghetto bave mu bikolwa ebikyamu. Katende yategeezezza nti Kawempe efiiriddwa obuweereza bwa gavumenti kuba ebbanga ddene babadde balonda abantu abalina ekigendererwa eky’okuwakanya gavumenti mu kifo ky’okukolera abantu. Katende yasomerako mu St. Kizito P/S e Bwaise, Sunrise P/S e Makerere gye yava okugenda e Mengo SS, Kitante Hill SS ne Kyambogo University n’afuna diguli mu busomesa.

Katende agamba nti wadde yakuguka mu busomesa, azze yeerandiza yekka nga yeetandikirawo obulimu obwa bulijjo obumuyimirizaawo. Ng’ayita mu kibiina kye ekya Jesus is Lord, yatandika okuwa abavubuka b’omu Kawempe emirimu egitali gimu era bamwenyumirizaamu. Munisipaali eno mu kiseera kino ekulemberwa Dr. Emmanuel Sserunjogi owa NUP kyokka nga ne Hajji Latif Sebagala yalangiridde nga bw’agenda okwesimbawo ku kifo kye kimu. Kati Katende awera kusuuza ba NUP kifo kino.