Fiina Masannyalaze ne Moses Matovu bavudde mu Fedeleesoni ya Kenzo

Jul 21, 2023

FIINA Mugerwa Masannyalaze nga ye muwandiisi w’ekibiina ky’abayimbi abakulirwa Cindy, alangiridde bw’avudde mu kibiina kya Kenzo.

NewVision Reporter
@NewVision

FIINA Mugerwa Masannyalaze nga ye muwandiisi w’ekibiina ky’abayimbi abakulirwa Cindy, alangiridde bw’avudde mu kibiina kya Kenzo.

Fiina, omuwandiisi w’ekibiina kya UMA ekimu ku bigatta abayimbi, eggulo (Lwakuna) yagambye nti avudde mu kibiina kya Kenzo oluvannyuma lw’okulemwa okutegeera ebigendererwa byakyo, okupapirira mu bikikolebwamu, okugaana okwaniriza ebibiina by’abayimbi ebyasangiddwaawo n’ensonga endala.

Eggulo Fiina yatuuzizza olukung'aana lwa bannamawulire ku National Theatre mu Kampala n’agamba nti, “Federation’ erina kugatta ‘Association’ z’eba esanzeewo kyokka eya Kenzo emulabikira ng’egenderera okusattulula ‘Association’ ya UMA.”

Yagambye nti UMA erudde ng’egatta abayimbi bonna mu ggwanga kyokka yeewuunya ate ‘Federation’ bwe yatandise okukola ‘Association’ so ng’ate ‘Association’ ze zandikoze ‘Federation’.

Fiina y’abadde omwogezi wa ‘Federation’ ya Kenzo kyokka agamba nti baamuyita mu lukiiko mwe baamuweera ekifo ekyo nga tategedde nnyo kituufu kiriyo.

Yategeezezza nti, yatuukayo ng’ayitiddwa ng’omuntu era bwe yatuuka kwe kwali okulonda ate n’alondebwa nga tavuganyiziddwa. Yakkiriza kyokka yeewuunya obwangu obwali mu buli kintu ekyali kitambula omwali n’okumulonda nga tannamanya kituufu kiri mu kibiina.

Moses Matovu

Moses Matovu

Agamba nti okuvaayo essaawa eno okwogera nga bulijjo asirise, kiva ku mbeera gy’abadde yeetegereza ebigendererwa bya ‘Federation’ alabe oba abitegeera agyogerere. Bwe yabuliddwa ebigendererwa mu bujjuvu kwe kuvaamu.

Yagambye nti, talwanyisa ‘Federation’ era agirabamu omulamwa kyokka engeri gy’etambuzaamu ebintu si ntuufu.

Yagambye nti, kikyamu abayimbi okubeera awo nga basuubira kufuna bufunyi ssente ekibafuula abasabirizi ng’ate basobola okweyimbira ennyimba ne bafuna ssente mu ngeri ng’eya ‘copyright’. Ky’ova olaba ng’etteeka kikulu okulirwanirira okusinga okuba ng’abasabiriza.

Ono si y’asoose okuva mu ‘Federation’ ya Kenzo, Moses Matovu owa Afrigo gye buvuddeko yalangiridde naye bw’avudde mu kibiina ekyo.

Kenzo yatandise ekibiina ekyo ng’agamba nti kigenda kwanguyiza abayimbi okwegatta kubanga ge maanyi. Awakanyizibwa abayimbi abamu olw’okulowooza nti ebigendererwa byandibaamu ssente ze batategeera gye ziva.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});