UCU etikkidde 1,006 omuli ne ba ddokita

UCU etikkidde 1006 omuli ne ba ddokita-balaze essanyu olwa gavumenti okulambika ku kugezesebwa kw’abasawo

Abamu ku bayizi abaafunye ddiguli mu busawo nga baganya.
By Saul Wokulira
Journalists @New Vision

UCU etikkidde 1006 omuli ne ba ddokita-balaze essanyu olwa gavumenti okulambika ku kugezesebwa kw’abasawo

Yunivasite y’Obukulisitaayo eya UCU e Mukono etikkidde abayizi 1006 mu matikkira ag’omulundi ogwa 24 agasookedde ddala.

Abayizi 29 be bayitirdde mu ddaala erisooka nga bano banywereddwamu akendo Yohana Eyob Ghebrekristos ng’akuguse mu busawo bwa mannyo bw’afunyeemu ddiguli.

 Abamu ku bayizi abaasomye amateeka abaweredde ddala 470 nga bajaganya oluvannyuma lw'okutikkirwa.

Abamu ku bayizi abaasomye amateeka abaweredde ddala 470 nga bajaganya oluvannyuma lw'okutikkirwa.

Amatikkira gano gakulembeddwa Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu ng’ono era ye cansala waayo.  

Mu matikkira gano, UCU ettikkidde abasawo ku ddala ly’obwa ddokita 54 okuli abafunye ddiguli mu kujjanjaba n’okulongoosa  45 n’abalala mwenda abakuguse mu bujjanjabi bw’amannyo.

Abasawo bano we bafulumidde ng’eggwanga lizze liraba abasawo abaamala okusoma emyaka egy’enjawulo nga beekalakaasa olwa gavumenti okulemererwa okubawa amalwaliro gye bagenda okutandika okugezesebwa ekimanyiddwa nga ‘internship’ ssaako abo abaasindikibwa mu malwaliro naye nga tebasasulwa.

Abamu ku basawo nga bajaguza oluvannyuma lw'okutikkirwa.

Abamu ku basawo nga bajaguza oluvannyuma lw'okutikkirwa.

Dr. James Magara akulira essomero ly’abasawo b’amannyo n’e Dr. Gerald Tumusiime akulira essomero ly’obusawo n’okulongoosa ku UCU boogedde ku nsonga eno.

Balaze essuubi nti gavumenti ng’eyita mu ddayirekita w’eby’obulamu, Dr. Henry Mwebesa yafulumizza ekiwandiiko olunaku lw’eggulo nga minisitule y’eby’obulamu bwe yakkirizza abasawo abaakamala okusoma okutandika okugenda okwegezaamu mu bifo eby’enjawulo 58.

Mu bbaluwa ya Dr. Mwebesa, yalambise nti abasawo 1,901 be bagenda okutandika okugezesebwa  nga bagenda kuba basasulwa akakadde kamu nga basuubirwa okutuuka mu bifo gye banaakolera omwezi ogujja nga August 3.

Abasawo boogedde ku mbeera eno ne basuubiza okukola ennyo okulaba nga bateekawo enjawulo. Mu bazadde, mwe muli ne Ssaalongo Ying. Patrick Ssembajjo ng’ono abalongo be babiri okuli Angella Nakato Nakiganda afunye ddiguli mu busawo ate Patrick Jim Wasswa ddiguli mu bwa yinginiya.

Abamu ku bakungu abeetabye ku matikkira mu kifaananyi eky’awamu.

Abamu ku bakungu abeetabye ku matikkira mu kifaananyi eky’awamu.

Omugenyi omukulu omulabirizi w’e Mityana eyawummula, Bp. Dunstan Kupuliano Bukenya asabye abayizi okubeera abeesigwa, abawa abantu ekitiibwa n’okwesiga Katonda mu buli kye bakola.

Ye amyuka cansala Prof. Aaron Mushengyezi alaze essanyu n’agamba nti guno gwe mulundi ogusookedde ddala yunivasite okutikkira abasawo.

Ye Ssaabalabirizi Kazimba akunze Abakulisitaayo okwettanira okuwagira yunivasite nga bayita mu kuwaayo mu kimanyiddwa nga UCU Sunday.