ABATEMU ab’ebijambiya balumbye ekigo kya St. Balikuddembe ne batema abakuumi babiri okuli; Richard Wandera ne mutabani we, Ssemakula.
Baabasanze ku ggeeti ya Klezia ne batandika okubatema oluvannyuma ne babaggyako amasimu ge baabadde nago. Baalumbye abaabadde mu bifo ebiriraanye Klezia ne batema Abdul Meremenya nga musuubuzi mu kabuga k’e Kisoga ne bamuyiwa ebyenda ne batwala essimu ze yabadde nazo.
Obulumbaganyi buno bwabadde ku kyalo Kisoga B mu Kisoga – Ntenjeru Town Council mu disitulikiti y’e Mukono.
Okusinziira ku mutabani wa Wandera gwe twasanze ajjanjabwa mu ddwaaliro (Herona Hospital), baalabidde awo ng’abasajja abakutte ebijambiya n’emmundu babalumba nga kitaawe baamutemye naye ne bamufumita ebiso nga bwe babasaba ssente.
Omusuubuzi Abdul Meremenya nga naye apooca n’ebiwundu mu Herona Hospital agamba nti yagenze okulaba ng’abakuumi ba Klezia babatadde wansi era ekyadiridde kwe kumusindika ne batandika okumufumita ebiso, kwe kugonda ne bamuggyako essimu n’ensimbi ze yabadde nazo.
Abantu bateebereza nti abasajja bano bandiba abakuumi ba ffakitole endala eziri mu kitundu kino.
Bwanamukulu wa klezia ya St. Balikuddembe Kisoga agambye nti beetaaga okwongerwa obukuumi mu kitundu kino kubanga abeebijambiya beeyongedde.
Omuwandiisi wa klezia ya St. Balikuddembe, Diana Mutatya yagambye nti baamukubidde essimu nga bamutegeeza nga Askari bwe bamutemye ne mutabani we kwe kukubira Faaza wakati mu kutya era nga ne gye buli eno ali mu kutya.
Kansala Mubiru Akabwayi n’eyali omubaka wa Mukono South mu Palamenti, Johnson Muyanja Ssenyonga era omutuuze ku kyalo kino beekokodde obulumbaganyi buno ne basaba abeebyokwerinda okwongera obukuumi.