EKITONGOLE ekikola ku mutindo gw’eddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority (NDA) kikutte Dokita Ashraf Rashid Lukwago atunda n’okujjanjabisa eddagala ly’ekinnansi nga kigambibwa nti abuzaabuza abalwadde abagendayo ku bika by’eddagala ly’abawa.
Abakulira ekitongole kino bamaze ebbanga nga basudde enkessi mu bulwaliro obujjanjabisa eddagala ly’ekinnansi, era eggulo (Lwakusatu) aba NDA nga bali wamu ne poliisi baazinze akalwaliro ka Lukwago aka Mukama Talemwa Herbal Clinic akasangibwa e Kawempe ne bamukwata nga bagamba nti akalwaliro ke kalina bingi ebitatuukana na mutindo.
Mu kunoonyereza baazudde nti, abamu ku balwadde babuzaabuzibwa ku bubaka bwe babawa obukwata ku ndwadde eziba zibaluma n’ebika by’eddaggala bye babawa okubawonya.
Yagambye nti n’engeri Dr. Lukwago n’abamu ku bantu be gye bajjanjabamu abalwadde abagendayo erimu obutali bulambulukufu.