Abaana ba Katongole owa UTODA balemeddeko ku mmaali ya kitaabwe
Sep 10, 2023
ABAANA ba Hajji Musa Katongole eyali owa UTODA balemedde ku jjajja w’Obusiraamu Omulangira Dr. Kassim Nakibinge nga baagala kkooti esazeemu bye yakola n’obukulembeze bw’Obusiraamu e Kibuli nga bagabanya emmaali ya kitaabwe. Balumiriza nti yalimu ebirumira bingi ebikontana n’amateeka.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
Bya MUSASI WAFFE
ABAANA ba Hajji Musa Katongole eyali owa UTODA balemedde ku jjajja w’Obusiraamu Omulangira Dr. Kassim Nakibinge nga baagala kkooti esazeemu bye yakola n’obukulembeze bw’Obusiraamu e Kibuli nga bagabanya emmaali ya kitaabwe. Balumiriza nti yalimu ebirumira bingi ebikontana n’amateeka.
Omulamuzi Elizabeth Kabanda Kibula owa kkooti ewulira ensonga z’amaka e Makindye, ku Lwokuna yalagidde Aisha Nakyanzi Katongole ne banne bakomewo mu kkooti nga November 9, 2023 batandike okuwa obujulizi bwabwe.
Nnamwandu Nnamba Bbiri, Fatumah Katongole Azaala Omusika.
Hajji Musa Katongole ye yali ssentebe wa UTODA mu Uganda, yafa March 31, 2021, n’aleka emmaali evuluuja mu Kampala, Wakiso, Kayunga n’ebitundu ebirala nga bibalirirwamu obuwumbi obuli mu 100.
Abaana ba Katongole okuli Aisha Nakyanzi Katongole, Muhamood Katongole Jr., Hanifa Nassaazi Katongole, Halima Namugenyi, Maimuna Namisango, Hadijja Nabaweesi, Mariam Namaganda ne Joweria Nabakooza baddukira mu kkooti nga bawakanya engabanya y’ebintu nga bagamba waaliwo kyekubiira, okunyigirizibwa n’okusosolebwa mu kugaba emmaali ya Hajji Katongole.
Nnamwandu Omukulu Ssanyu Katongole.
Abaana abeemulugunya bagamba nti engabanya yalimu kyekubira ng’abamu baaweebwa ebyobugagga ebisava ate bo ne bafuna ebyesudde ekibuga. Baagala kkooti eragire ebyobugagga byonna biddemu okugabibwa mu ng’eri ey’ekyenkanyi.
Omusango guli ku fayiro nnamba HCT-00-FDCS-0405-2022 ng’abaana bawawaabira Jjajja w’Obusiraamu Omulangira Kasim Nakibinge Kakungulu n’abalala okuli Hajji Haruna Kalule Kibirige, Hajji Muhamood Katongole, Abubaker Kaweesi ne batwaliramu ne ofiisi ya Supreme Mufti wa Uganda.
Nnamwandu Nnamba Ssatu Aisha Katongole.
Katongole agambibwa okuba nga yaleka abaana 16 era ebiwandiiko ebiri mu kkooti biraga nti emmaali ye ebalirirwamu obuwumbi 100 ng’ebimu ku byobugagga mulimu poloti ensava 85 n’amayumba ag’ebbeeyi 135 mu Kampala, Wakiso n’awalala.
Ebiwandiiko bya kkooti era biraga nti omusango bwe gwassibwayo, abawawaabirwa okuli n’omulangira Nakibinge bassaamu okwewozaako kwabwe era kati byonna biwedde omulamuzi agenda kutandika kuwulira bujulizi bw’enjuyi zombi olwo kkooti eriwa ensala yaayo ng’abawaabi n’abawawaabirwa bamaze okwewozaako.
Emmaali ya Katongole kuliko Hostel eyitibwa MAIMOOD e Wandegeya, ekizimbe ku Martin Road okumpi ne Pearl FM, amaka e Ntinda, Kisaasi, ne Kanyanya, ffaamu ggaggadde e Kayunga, poloti ewa Kisekka we booleza mmotoka, ettaka e Nakasajja - Mukono, plot 85 mu Kampala, Wakiso ne Mukono.
Ebirala kuliko amayumba ag’enjawulo 135, emmotoka za ttakisi ne kosita eziwera ssaako emmotoka za buyonjo ezisukka 20.
Ono era yaleka abakyala basatu nga buli omu ali mu maka ge okuli ow’e Kanyanya, Ntinda ne Kisaasi.
Okusinziira ku kiraamo kya Katongole, ebyobugagga bye byalina okugabibwa nga bagoberera enkola y’Obusiraamu eya Sharia.
Omusiraamu bw’aba alaama alina kukoma mu kulaga byabugagga by’alese, abaana abawala, abalenzi n’abakyala olwo ebisigadde Sharia y’eramula.
Mu Busiraamu temuli musika, abaana bonna babeera basika era bonna balina okufuna kyenkanyi ku byobugagga bya kitaabwe. Abaana abalenzi bonna bafuna kyenkanyi nga tebaawuddeemu mukulu oba muto.
Amaka G’omugenzi Katongole Agaali Ku Ffaamu Y’e Kayunga.
Buli mwana omulenzi afuna ebyobugagga ebikubisaamu eby’omuwala emirundi ebiri. Kwe kugamba omuwala bw’afuna bya bukadde buna ye omulenzi aweebwa bya bukadde munaana.
Nnamwandu abeera asangiddwa mu maka agabana ebyobugagga bya kitundu kimu kya munaana ku byobugagga bya bba. Nnamwandu ne bw’abeera nga teyazaala mwana ng’omusajja y’alina abaana era afuna omugabo gwe gumu.
Kyokka omusajja bw’abeera nga talese baana kyokka ng’abadde n’omukazi, nnamwandu aweebwa ekitundu kimu kyakuna ku byobugagga byonna. Omukyala eyayawukana ne bba mu mateeka tagabana kyokka abaana b’azaala bo bafuna.
Kyokka omukyala yenna abeera asangiddwa nga yayawukana ne bba talina mugabo gw’afuna ku mmaali y’omufu. Kyokka abaana be yazaala mu ddya bo bagabana.
Abazadde okuli taata oba maama bwe baba nga bakyaliwo bafuna ekitundu kimu kya mukaaga eky’emmaali. Olwo emmaali yonna eba esigaddewo ebeera ya bamulekwa.
Abooluganda tebalina mugabo gwonna ku byabugagga, okuggyako nga bamulekwa be basiimye ne babawaako.
No Comment