Akabenje kano kaabaddewo mu kiro ekyakeesezza leero ku kyalo Mumusa mu disitulikiti y'e Mityana, mmotoka ekika kya Isuzu Elfu nnamba UBH 369 J bw'etomereganye ne FUSO nnamba UBK 415 N ebadde eva e Mityana okudda e Mubende .

Emu ku mmotoka eyaweddewo.
Robert Bukenya, ddereeva wa Elfu era nga mutuuze w'e Naama e Mityana, afiiriddewo n'abalala basatu ababaddeko era nga mu kiseera kino emirambo gitwaliddwa mu ggwanika ly'e ddwaaliro e Mityana, okwongera okwekebejjebwa .
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala Racheal Kawala, agambye nti omuyiggo gwa ddereeva wa FUSO gugenda mu maaso era ng'emmotoka ziggyiddwawo ne zitwalibwa ku poliisi y'e Mityana ng'okubuuliriza bwe kukolebwa.