Amawulire

Sinotruck egoyezza ttakisi e Nkoowe n'etta ddereeva ne kondakita!

Abantu babiri bafiiridde mu kabenje akagudde e Nkoowe Wakiso ku luguudo Oluva e Kampala okudda e Hoima ate abalala 9 ne bakosebwa. 

Sinotruck egoyezza ttakisi e Nkoowe n'etta ddereeva ne kondakita!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu babiri bafiiridde mu kabenje akagudde e Nkoowe Wakiso ku luguudo Oluva e Kampala okudda e Hoima ate abalala 9 ne bakosebwa. 

Kabaddemu mmotoka Sino Track nnamba UBK 495F egambibwa okulemerera ddereeva waayo n'etomera emmotoka endala okubadde kamunye nnamba UAT 272J , Subaru Forester nnamba UBB 353 D ne UBE 918T Toyota Wish. 

Sino truck ebadde yeetisse amayinja ng'eva ku ludda lw'e Kakiri okudda e Kampala, bw'etuuse e Nkoowe, kwe kutomera emmotoka zino essatu okubadde ne ttakisi. 

Ddereeva wa ttakisi ne kondakita, bafudde ate abasaabaze 9 mu takisi ne balumizibwa.  Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, agambye nti 5 ku balumiziddwa bantu bakulu ate abaana babadde bana. 

Tags:
Amawulire
Kabenje
Sinotruck