Amawulire

Male Mabiriizi amaze n'akkiriza emisango egimuvunaanibwa mu kkooti

Mabirizi abadde yakomezeddwawo mu kkooti mu maaso g'omulamuzi Winnie Nankya Jatiko era omusango gubadde gugenda kutandika okuwulirwa Mabirizi n’ategeeza nga bwe yataddemu obuwandiike obukkiriza omusango guno.

Male Mabiriizi amaze n'akkiriza emisango egimuvunaanibwa mu kkooti
By: Harriet Nakalema, Journalist @New Vision

MUNNAMATEEKA Male Mabirizi kyaddaaki akkiriza emisango egibadde gimuvunaanibwa.

 

Mabirizi abadde yakomezeddwawo mu kkooti mu maaso g'omulamuzi Winnie Nankya Jatiko era omusango gubadde gugenda kutandika okuwulirwa Mabirizi n’ategeeza nga bwe yataddemu obuwandiike obukkiriza omusango guno.

 

Ono yategeezezza kkooti bwali omweteefuteefu okukkiriza emisango wamu n’okulindirira ekibonerezo ekinaabera kimuweereddwa era bino byonna eby’okumuggulako emisango osanga binaaba bifuuse lufumo.

 

Yategeezezza omulamuzi nti ssinga abeera tasobola kumuwa kinonereza talina buzibu na kulinda mulamuzi ali mu musango ggwe kukimusalira ne bw’anaaba taliiwo. Wano omulamuzi yazzeemu n’amusomera emisango esatu gyonna n’agikkiriza.

 

Ku misango egimusomeddwa kuliko ogwo’kufulumya amawulire amakyamu ng’ayita ku mukutu gwe ogwa TikTok mu mannya ga @male.mabirizi, n’asaasaanya obubaka mwe yategeereza nti Ssabalamuzi w'eggwanga Dr Flavian Zeija mufere era muli wa nguzi mu January wa 2026.

 

Ono teyakoma ku Ssaabalamuzi wabula yawalampa omulamuzi wa kkooti ejulirwamu Musa Ssekaana ng’agamba nti mufere era mubbi ekitaali kituufu.

 

Omusango ogw'okusatu ogumugguddwako gwakuddukanya mukutu gwa TikTok mu mannya ga @male.mabirizi nga talina biwandiiko bimukkiriza kuva mu kitongole ekya UCC.

 

Oludda oluwabi nga lukulembeddwa omuwabi wa gavumenti Joan Keko lwategeezezza kkooti nti si lwetegefu kugenda mu maaso na kusomera Mabirizi ngeri gye yazzaamu musango guno.

 

Omusango gwayongezeddwaayo okutuusa nga September 21, 2026 okusomera Mabirizi engeri gye yazzaamu emisango wamu n’okulindirira omulamuzi ali mu musango guno w’anaabeera okuwa ensala ye.

 

Mabiriizi yakwatibwa mu February w'omwaka guno n’aggulwako emisango 4 okuli egy’okusaasaanya obubaka abukyamu wamu n'okusiga obukyayi mu bantu.

Tags:
Amawulire
Male Mabiriizi