Amawulire

Bantongozza yinsuwa okuyamba Bannayuganda abali ku kyeyo

BANNAYUGANDA bangi nti tebannamanya bukulu bwa yinsuwa era okuzettanira kukyali kutono . Embeera eno ewalirizaz abakugu mu byayinsuwa okwongera amaanyi saako n'obutakoowa kusomesa bannansi ku bulungi obuli mu kwettanira yinsuwa naddala ey'ebyobulamu n'obujjanjabi, oli k'abeere ku kyeyo emitala w'amayanja .

Aba yinsuwa nga boogerako eri bannamawulire mu Kampala
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BANNAYUGANDA bangi nti tebannamanya bukulu bwa yinsuwa era okuzettanira kukyali kutono . Embeera eno ewalirizaz abakugu mu byayinsuwa okwongera amaanyi saako n'obutakoowa kusomesa bannansi ku bulungi obuli mu kwettanira yinsuwa naddala ey'ebyobulamu n'obujjanjabi, oli k'abeere ku kyeyo emitala w'amayanja .

 

Na bwekityo, Bannayuganda abagenda oba abali ku kyeyo ebweru w'eggwanga, waliwo enteekateeka ya yinsuwa etongozeddwa eyitibwa Uganda Migrant Workers Insurance Scheme (UMWIS). 

 

Mu kaweefube okulaba nga buki Munnayuganda aganytulwa mu nteekateeka ya yinsuwa , aba NIC Life Assurance nga bali wamu ne SPADES Insurance Brokers, batongozza yinsuwa eyitibwa Uganda Migrant Workers Insurance Scheme (UMWIS).  okutaasa bankubakyeyo naddala singa wabaawo obubenje, okufa oba embeera endala ez'okusoomooza.

 

Nga basinziira mu lukung'aana lw'abaamawulire mu Kampala,  kkampuni eno eya   NIC Life Assurance yakwasizza ensimbi obukadde 30 eri abooluganda lwa Issa Bakole Sadik  ng'ono yafiira ku kyeyo mu Buwarabu.

 

Aba ffamire y'omugenzi okwabadde Sadik Bakit ne Nasuru Hassen bannyonyode ku kiseera eky'okusomozebwa kyebayitamu nga bamaze okufuna amawulire g'omuntu waabwe okufa wabula nebasima aba yinsuwa  eno olw'okubabererawo okuviira ddala kukukomyawo omulambo ate nebatakoma okwo nebakola nekunteekateka z'okuzika.

 

Akulira NIC Life Assurance Athony Lubandi  yategeezezza nti ekika kya yinsuwa eno okusinga kigendereddwaamu  okukuuma abakozi Bannayuganda abagenda okukolera ebweru w’eggwanga n’ab’omu maka gaabwe ku bizibu ebiyinza okubatuukako.

 

Akulira NIC Life Assurance Anthony Lubandi bweyabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala

Akulira NIC Life Assurance Anthony Lubandi bweyabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala

 

Yakubirizza Bannayuganda abali ku kyeyo n’abateekateeka okugenda okukolera ebweru w’eggwanga okweyunira yinsuwa eno, okubayamba okukendeeza ku buzibu bw’ensimbi mu mbeera enzibu etasosola mwavu yadde omugagga naddala ey'okufa.

 

Chris Ssengendo akulira SPADES Insurance Brokers Limited  yasabye  gavumenti nga eyita mu Minisitule y'ekikula ky'abantu   okulifula eteeka nga buli muntu agenda ebweeru yegatta ku yinsuwa eno .

Tags: