ABAZIGU ab'emmundu basindiridde ssemaka amasasi agamuttiddewo mu kiro ekikeesezza leero e Nsangi.
Ssekandi abadde musuubuzi era ng'abadde abeera mu zzooni eyo. Kigambibwa nti abadde ne mukyala we ne mutabani waabwe mu mmotoka ekika kya Subaru Forester nnamba UA 401 DN nga bava e Kitemu gye bakolera nga badda awaka e Manja .
Nga batuuse ku geeti, wano abatemu we bamukubidde amasasi agamuttiddewo oluvannyuma ne beeyongerayo nga poliisi etandise omuyiggo era n'esaba oyo yenna aliko ky'amanyi ku ttemu eryo, okubatemyako okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala Racheal Kawala.