EKITONGOLE kya KCCA kiragidde kkampuni zonna eziri mu kukola enguudo mu Kampala okuzimaliriza mu December nga byonna ebyakkaanyizibwako mu ndagaano biteereddwako.

Hajjati Buzeki bwe yabadde alambula olumu ku nguudo eziri mu Kampala
“Twawa kkampuni okukola enguudo ez’enjawulo mu Kampala era nga tuziwadde ebbanga mwe zirina okuzimaliriza naye zaavaayo ne zinnyo nyola ebimu ku bisoomooza bye zisanze era kwe kukkaanya nti mu mwezi gwa December enguudo zijja kuba ziwedde okukola olwo zidde mu mikono gya KCCA’” Hajjati Buzeki bwe yagambye.

Buzeki bwe yabadde alambula olumu ku nguudo zino
Yagambye nti enguudo zino ezikolebwa ziteereddwamu emidumu kkampuni eziyisaamu waya z’amasimu n’amazzi mwe zirina okuyita nga kino kyagendereddwamu okutangira okuzisima nga zimaze okukolebwa ssaako n’okutangira mukoka okuyitira ku ngulu.
Buzeki ng’alambula yasanze nga waliwo abantu abamu abaasalawo okuyunga emidumu egiyiwa amazzi agava mu binaabiro ku midumu egyateereddwa mu mifulejje n’alagira gizibibwe kuba bano be bavaako okusaasaanya obukaafu era n’alagira abeebyobulamu mu KCCA okugenda nga balaba amaka gonna agayunze emidumu egitwala amazzi amacaafu ne bagiyunga ku midumu gya KCCA.
Mu nguudo Buzeki ze yalambudde kuliko olwa Queens Way lwe yagambye nti lwakutwala mmotoka mukaaga era nga kuliko n’ekkubo lya bbaasi nga luno lwakuggwa mu December.

Enguudo endala kuliko Mukalazi Road lwe yagambye nti luli ku bitundu 70 ku 100, Muganzirwazza oluli ku bitundu 35 ku 100 ne Nsamba Road eziri mu munisipaali y’e Kawempe , Mackinnon Road , Square 1 ne George Street mu Kampala Central wamu n’oluva ku Ring Road Okuyita ku nnyanja ya Kabaka ne lugatta ku lwa Nabunnya.
Buzeki yagambye nti kkampuni zonna ezaapatana enguudo zino okukolebwa zirina okuteeka ebiri mu ndagaano mu nkola okuli okuteekako amataala, abeebigere we batambulira , okwera n’okulonda kasasiro nga bwe zinaggwa KCCA w’egenda okutandikira.