Amawulire

Ab’e Masaka balaajana olw’ekyeya ekikazizza ennimiro zaabwe

BAASOOKA ne bafuna ku ssanyu oluvannyuma lwa nnamutikkwa w’enkuba eyafudemba, ensaalu zajjula amazzi, ennyanja yabooga n'etuuka okusalako enguudo naddala mu masoso g’ebyalo ekyavaako abalimi n'abalunzi okweyagalira mulimu guno nga bafunye ensimbi mu mmwaanyi sizoni 2.

Salim Bukenya ng’alaga omusiri gwe ogw’emmwaanyi bwe gukaze.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BAASOOKA ne bafuna ku ssanyu oluvannyuma lwa nnamutikkwa w’enkuba eyafudemba, ensaalu zajjula amazzi, ennyanja yabooga n'etuuka okusalako enguudo naddala mu masoso g’ebyalo ekyavaako abalimi n'abalunzi okweyagalira mulimu guno nga bafunye ensimbi mu mmwaanyi sizoni 2.
Kyokka mu kiseera kino, omusana ogwase okuva mu mwezi gwa May gukazizza emisiri gy'emmwaanyi, omuddo gw'ensolo n’okukaliza enzizi era kizibu okukkiriza nti enkuba yali etonnyeeko.

Disitulikiti okuli; Masaka, Rakai, Bukomansimbi, Lwengo, Kalungu, Lyatonde, Ssembabule n’emiriraano zonna zikaaba ekyeya kino.
Abalima ebirime okuli kasooli, emmwaanyi, ennyaanya, ebitooke n'ebirala bali mu maziga. Abamu ababadde bagezezzaako okufukirira nabo basobeddwa oluvannyuma
lw'enzizi ne ddaamu okukalira.
Ebisolo kati birya muddo mukalu era n'amata gakendedde. Kati abantu amazzi baganoonya mu bisaalu nga nayo kati wakalu. Bannabuddu bali mu kutya ku kigenda okuddiririra okuli enjala, kakutiya gye basuubira okuddirira kuba bulijjo obuwunga y'ebadde etera okuliibwa mu kiseera ng’ekyeya kizinzeeko ebitundu bino, kyokka ekibi ne kasooli eyandibataasizza yakalira ku misiri.
E Ssembubule ne Rakai mu byalo ebimu ente zitandise okufa, amata gakendedde ekiwalirizza kkampuni agamu agongera omutindo ku mata okuvaayo ne bategeeza bakasitoma nti tebakyasobola kufuna mata gamala kubaweereza mu kiseera kino. Mu disitulikiti y’e Kyotera, okusinziira ku kkansala Edward Ssekalejja agamba nti ente mu ggombolola ye Kabira gy'akiikirira mu byalo nga Bukaala, zitandise okutondoka nga bwe zifa olw'enjala n'ebbula ly'amazzi.
E Bukomansimbi, omutuuze Robert Kasekende akulira ebyamawulire ku kyalo Kigaba - Kawoko e Bukomansimbi yategeezezza nti bangi ku babadde n'emisiri gy'emmwaanyi bali maziga olw'ekyeya ekizikazizza ne zifaanana ng'ezikumiddwaamu oluyiira.
E Ssembabule, Eric Kiggundu omutuuze ku kyalo Kasaalu mu ggombolola y'e Mateete, yategeezezza nti ne ddaamu kwe bandibadde bafuna amazzi okufukirira ebirime nazozaakalidde.
Mu magombolola agamu nga Lwabenge mu Kalungu, Kyalulangira, Dwaaniro, Kacheera, Kiziba mu Kooki e Rakai, kw'ossa ebitundu by'amagombolola agali e Kakuuto, Lyantonde, Ndagwe mu Lwengo, Bigasa ne Kitanda e Bukomansimbi mu kiseera kino enzizi naddala eza Nayikondo zikaze ssaako ddaamu nga kati abantu amazzi bagaggya mu nsaalu ate nga macaafu.

Tags: