Amawulire

Namyalo atongozza okusabira emyeyo gy'Abaanunula eggwanga

AKULIRA offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga [ONC] Hajat Hadijah Namyalo Uzeyi, atongozza omukolo gw’okujjukira n’okusisimula emyoyo gy’abalwanyi abaleeta emirembe mu bukulembeze bwa NRM nga September/15, 2026,  ku offiisi eno Pulezidenti Museveni bwannabeera ng’ajaguza okuweeza emyaka 82.

Namyalo atongozza okusabira emyeyo gy'Abaanunula eggwanga
By: Joseph Mutebi, Journalist @New Vision

AKULIRA offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga [ONC] Hajat Hadijah Namyalo Uzeyi, atongozza omukolo gw’okujjukira n’okusisimula emyoyo gy’abalwanyi abaleeta emirembe mu bukulembeze bwa NRM nga September/15, 2026,  ku offiisi eno Pulezidenti Museveni bwannabeera ng’ajaguza okuweeza emyaka 82.

Namyalo yagambye nti bweyatunnudde ng’alaba waliwo obubonero obumu obulaga embeera etali nnungi mu ggwanga nga enjala n’e kyeye ebyakuba ebitundu by’e ggwanga eby’enjawulo nga bikulembeddwamu  Karamoja ne disitulikiti za Buganda ezimu ezisangibwa mu Buddu,  n’alowooza nti osanga waliwo ekitagenda bulungi ng’abamu ku bantu baffe abaleeta emirembe okuli abakyali abalamu abakulemberwa Pulezidenti Museveni, Gen Salim Saleh n’abalala okuli n’abafa betaaga okuddamu okujjukirwa amaanyi n’obumalirivu bwebateeka okutuusa eggwanga weeri okwawukana ku mirembe gya Iddi Amini.

“Omulamwa gwaffe twagutuumye okujjukira emyoyo gy’abo bonna abalamu n’abafu abalwanyi abaleeta emirembe  [Spiritual Revival Of The Fallen Warriors] nga twasazeewo okubasabira mu ngeri ey’enjawulo nga tetwawuddemu wadde oba ggwe wabawa emmere okulaba nga batukkiriza ekigendererwa kyabwe” Namyalo bweyagambye.

Bino Namyalo yabyogeredde ku offiisi ya ssentebe wa NRM  e Kyambogo [ONC] Ku Mmande nga September,07/2026 ku mukolo ogwetabiddwako abazzukulu ba Museveni okuva mu bitundu bya Uganda eby’enjawulo abaweera nga bwe bagenda okubaawo mu bungi nga September/15/2026, Museveni lwanaweeza emyaka 82,  nga bamulaaga obuwagizi n’okusiima bonna beyali nabo mu nsiiko.

Yagambye nti ku balwanyi bano kwaliko abasinziira e Katongo okuwamba Kampala nga bakulemberwa Gen. Saleh , ab’e Birembo, Luweero, Kabamba, Nsunga, Kiboga, Nakaseke, Nakasongola, Mityana, Mubende ne Kampala.

My 12

My 12

Abamu ku baziira 27, abatandiika ne Museveni olutalo lwa [NRA] mu 1981 e Luweero kuliiko, RO/0001 to RO/0027  Yoweri Museveni (RO/0001), Eriya Kategaya (RO/0002), Maj. Gen. Kahinda Otafiire (RO/0014), Maj. Gen. Gisa Fred Rwigyema (RO/0015), Gen. Salim Saleh (RO/0016), Gen. Elly Tumwine (RO/0023), Pecos Kutesa (RO/0026) n’abalala

 Yagambye nti nga September 15, 2026, bannayuganda bakubeera Kyambogo nga awagenda kubeerawo okusaba okugenda okwetabwamu ezikkiriza zonna mu Uganda okuli abakatukiki, abasiraamu, abakristaayo, abalokole n’amaddiini enddala zonna.

Mu kiseera kino, nga Pulezidenti aweeza emyaka 82, egy’obuto ate nga bannayuganda baddamu ne bamwesiiga ne bamuwa obuvunaanyizibwa okubakulembeera Uganda emyaka emirala ettaano, Tugenda kumusaba ayongere okulwanyisa obwavu ng’agatta ku kaweefube omulungi gw’ataddewo okubugoba ng’ayita mu nkola ya PDM, Emyooga, Grow n’enkola enddala

Ssaako ebula ly’emirimu, okwongera okukola enguudo , okutumbula eby’obulamu ssaako ne nguzzi ekudde ejjembe naddala mu bitongole bya gavumenti ebinenne.

       Yagambye nti abamu kuba  ffamire z’abantu abakola ekinenne okuyambako ku Museveni okuleeta emirembe betubadde tetumaanyi bwebalabye nga tutuddewo okusaba kuno okw’enjawulo batutukkiridde ne batusaba nabo ng abwe baagala okubeerawo ku mukolo guno era tubasuubira mu bungi okugwetabaako.

My 45

My 45

Yasabye abavubuka abalina endowooza egamba nti tunakomya ddiini okujjukira abantu bano abaleeta emirembe ne beerabira nti ekiri e Somalia, Libya, Sudan n’amawanga amalala emirembe gye kikyaganye okudda mu nteeko nabo bali balowooza nga bo. Era ye nsonga lwaki tusaba bannayuganda okumanya lwaki tukyalina okunyweza emirembe NRM gye yaleeta.

“Bw’otuuka e Luweero ne Katonga  n’olaba obuwanga okakkasizza ddala nti abantu bano abalwanyisa efuga bbi okuli abalamu n’abafa nga baleeta emirembe gino olina okubajjukira ku lunnaku luno nga omwagalwa waffe YK Museveni aweeza emyaka 82,  ng’ate yakyali omukulembeze waffe.” Bwatyo Namyalo bweyategezezza

 Museveni mu butuufu akyusizza Uganda, ensi y’amakoleero, akoze enguudo, atumbudde bonna basome ng’ayita mu  nkola ya UPE, USE ne UCE  ng’ayagala okulaba nga buli munnansi amaaanyi okusoma n’okuwandiika era akikoze.

 Kati  alina kwongera kulwanyisa kutonda wo mirimu bannayuganda abasomye basobole okweyagalira ku mulembe gwe nga basobola okwetusaako ebintu ebitandiikirwako.

Yasabye Museveni ayongere amaanyi okuzuula ekituufu oba abantu abalwana abagamba nti tebafuna nga kasiimo kaabwe bye bogera bituufu akitereze.

 Yasasidde Obukama bwa Tooro  ne maama w’omugenzi Omukama, Bestie Kemigisha okuviibwako Omukama Oyo era n’abasaba babeere bumu nga bwe balinddirira okufuna Omukama agenda okuddira abadde Omukama OYO eyafudde ku myaka emito.

Akulira eby’amawulire mu offiisi eno, Hakim Kyesswa yagambye nti abavubuka mu kiseera kino balina okumaanya nti abalwanyi abaleeta emirembe si,  be beebo bokka 27,  abatandiika olutalo ne Museveni mu 1981 e Luweero  kubanga kuliiko n’abavubuka abaali abato abasoma nga ne Museveni ku Mbarara SSS abalwanira mu Lutalo lwa FRONASSA mu 1973, e Tanzania era bannayuganda bagenda bategera kw’olwo.

My 45

My 45

Bannayuganda nsaba mu manye nti abantu bangi abakola ennyo mu kuleeta emirembe gino okuli eyali omuvubuka omuto Kaheru ku myaka 19,  gyokka bamuttira e Kyambogo wano wetusinzidde okwogera ng’amaze okutta abajaasi ba Amiini 11, nga batandiika olutalo lwa FRONASSA.

 Goerge William Kalema, amyuka Ssabakunzi wa offiisi ya ssentebe wa NRM mu Uganda, Yagambye nti okusaba kuno bagenda kulajanira nnyo omutonzi okulaba nga ettemu erigenda mu maaso mu bitundu bya Uganda ebimu n’e njala , obuli bwe nguzzi , empiisa, omusaana n’obwavu bigwawo

Tags: