Amawulire

Bryan White alemedde mu kkomera lwa bukadde 10

BRYAN White eyacaaka ennyo mu Kampala olw’okumansa ssente, lemeddwa okuva e Luzira lwa kubulwa bukadde 10 ez’akakalu ka kkooti!

Bryan White
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BRYAN White eyacaaka ennyo mu Kampala olw’okumansa ssente, lemeddwa okuva e Luzira lwa kubulwa bukadde 10 ez’akakalu ka kkooti!
Ono ng’amannya ge amatuufu ye Bryan Kirumira, ali ku misango gy’obutemu n’okusaddaaka omuwala Carol Nalubwama. Emisango gino agiriko ne Daisy Nalunga, Daphine Abaho ne Nakato Naava.

Ku Lwokutaano oluwedde, Kkooti Enkulu mu Kampala ng’ekubirizibwa omuwandiisi waayo Paul Gadenya Walimbwa, yakkirizza okusaba kwa Bryan White okweyimirirwa n’emulagira asasule obukadde 10 ez’obuliwo ne yeekubaakuba nga talina w’aziggya, kwe kumuzza ku kkomera e Luzira.
Omulamuzi Gadenya okuyimbula Bryan White yeesigamye ku kuba ng’awezezza ennaku 193 ku kkomera kyokka ng’oludda oluwaabi terunnamaliriza kunoonyereza, kwe kusalawo ayimbulwe nga ssemateeka w’eggwanga bw'alambika, nga Gavumenti bw'emaliriza okunoonyereza kw'eriko.
Omulamuzi yamutaddeko obukwakkulizo bw’okuleeta abantu babiri abamweyimirira, nga bo baakusasula obukadde 50 ezitali za buliwo. Kuno kw’ossa okuwaayo densite ye, paasipooti, aleete n’ebbaluwa y’ekyalo gy’abeera.
Yagasseeko okumukugira okulinnya ekigere mu kifo we yaddiza omusango guno e Salaama, wadde ng’awangaalira mu kitundu kino, era nga takkirizibwa kuvaawo okuggyako ng’afunye olukusa lwa kkooti.
Yamulabudde obutagezaako kutaataaganya kunoonyereza wadde okutiisatiisa abajulizi b’oludda oluwaabi kw’ossa obutageza kusemberera bantu ba ffamire y’omuwala eyafiira mu ngalo ze. Kuno kwossa okweyanjulanga mu kkooti e Makindye bwanaaba afulumye ekkomera, buli lwa mmande esooka mu mwezi. Yamulabudde nti singa amenya akamu ku bukwakkulizo buno, okweyimirirwa kwe wakukusazaamu bunambiro. Fayiro omulamuzi yalagidde eddeyo e Makindye mu kkooti, okutuusa Bryan lwanasindikibwa
mu kkooti enkulu. Abavunanibwa abalala kuliko Daisy Nalunga, Daphine Abaho, ne Nakato Naava.

Tags: