Amawulire

Biyinzika: Engeri gye yeerandiza okuva mu ttakisi n’afuuka binojjo

SAMUEL Mukasa Biyinzika, nnan­nyini Biyinzika Enterprises Limited, yasooka kuvuga ttakisi n’agenda nga yeerandiza okutuuka lwe yaz­imba obugagga obuvuluuja.

Amaka ga Mukasa Biyinzika agasangibwa e Mutungo mu Nakawa nga bwe gafaanana..jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

 Bya Lawrence Kizito

SAMUEL Mukasa Biyinzika, nnan­nyini Biyinzika Enterprises Limited, yasooka kuvuga ttakisi n’agenda nga yeerandiza okutuuka lwe yaz­imba obugagga obuvuluuja.

Mu kiseera kino ebyobugagga bye biri ku kaguwa, oluvannyuma lwa bannamateeka ba Cairo Bank, ebanja Biyinzika aba Tumusiime, Kabega and Company Advocates, okulanga mu mawulire ebyobugag­ga bye nti byakutundibwa ku nny­ondo mu nnaku 30 okuva ekirango bwe kyafulumye mu mawulire ku Lwokubiri nga September 12,2023.

Bbanka ya dfcu ne Cairo zibanja Biyinzika ssente obuwumbi 20, ezimulemye okusasula, nga okusin­ziira ku mutabani we Isaac Mukasa, beetaaga obuwumbi 30 okusobola okudda engulu. We twogerera bino bizinensi za Biyinzika zonna tezikyakola, olw’okubulwa ssente eziddukanya emirimu.

Olwaleero tukuleetedde emboozi ku ngeri Biyinzika gye yeerandiza n’afuuka omulunzi w’enkoko era omukozi w’emmere yaazo omu ku basinga mu buvanjuba bwa Africa.

 BIYINZIKA Y’ANI?

Mu mboozi ey’akafubo Biy­inzika gye yalimu n’olupapula lwa Bukedde mu 2014, agamba nti yazaalibwa Rev. Canon Nasanayiri ne Dinah Mukasa kati abagenzi nga baali batuuze b’e Nantabulirirwa, Seeta - Mukono.

Yasomera Ntinda Primary School, gye yava n’agenda ku St. Mary’s Kisubi, bwe yava mu ssomero yatandika omulimu gw’okuvuga ttakisi mu Kampala. Olw’obukozi n’amazima, Biyinzika yakuhhaanya mangu ssente n’agula ttakisi eyiye, n’ava mu y’omugagga.

Yanyiikira n’agula ttakisi endala nnya ze yawa baddereeva ne batan­dika okuvuga nga bwe zimuwa ssente buli lunaku.

Wakati ng’ali mu mulimu gw’okusaabaza abantu n’ebitereke, yavugako kabangali ng’asomba ebirime okubituusa mu katale e Nakasero naddala mu mwaka gwa 1980.

Mukasa agamba nti ttakisi yamuyigiriza ebintu bingi, nga ekis­inga obukulu mu byonna kwe kwe­nyigira mu mirimu n’otagirekera bakozi, ekikuyamba okumanya bizinensi bw’etambula.

 

 OKUTANDIKA KKAMPUNI YA BIYINZIKA

MU 1990, Mukasa ne mukyala we baasalawo okuyingira bizinensi y’enkoko era ne batandika kkam­puni ya Biyinzika Enterprises Limited. Eemirimu gyayo okuva ku ntandikwa gyali mu bizinensi ya kulunda nkoko, wabula oluvan­nyuma yagaziwa n’etandikawo n’emirimu emirala ng’okulima ovakedo n’okukola butto.

Okusinziira ku mutabani wa Biyinzika, Isaac Mukasa, kkampuni eno ezze egaziwa mpolampola ng’ekola ebintu ebiri ku mutindo, era ng’abalunzi b’enkoko bagy­enyumiririzaamu nnyo.

Biyinzika ye yatandika okukola emmere y’enkoko eya Pellets, ne yeegulira erinnya mu balunzi b’enkoko okwetooloola eggwanga.

Kuno yagattako okwaluza obu­koko, okukola emmere y’enkoko n’ebisolo, okulma ovakedo n’okukamula butto.

Yafuna akatale akagazi okwe­tooloola amawanga g’obuvanjuba bwa Africa, okuli Tanzania, Kenya, Rwanda, Burundi ne Uganda.

Wansi wa kkampuni ya Biyinzika, mulimu bizinensi ez’enjawulo, omuli eya Tyson Feeds, ekola em­mere y’enkoko n’ebisolo, Tyson Chicks eyaluza obukoko, kw’ogatta okulima ovakedo ow’ekika kya Hass, Fuerte, ne Pinkerton, nga abirimira ku bugazi bwa yiika 200 e Nakaseke.

 BASONZE KU NKWE EZIMU KU ZIMUUDDE

Ensonda mu balimi n’abasuubuzi zigamba nti Biyinzika yaleeta entabula y’emmere y’enkoko em­pya mu Uganda, n’ayatiikirira nnyo. Kuno yagattako okutuusa enkoko ezibiika amagi ge baaluzaamu obukoko (Parent Stock), abalimi ne bamwagala nnyo kubanga obu­koko bwe bwali bugumira embeera n’endwadde.

Kigambibwa nti kino kyaleetawo okusika omuguwa n’abaali mu bizinensi y’emu, ne baluka olukwe olw’okumusuula. Mbu baasooka kumusindikira abantu okumuwa amagezi, nga baagala agaziye bizinensi, okukkakkana nga baguze emigabo mu kkampuni ye ne ba­fundikira nga bagimulemesezza.

Era kigambibwa nti bwe yamala okufutizibwa, yaddamu okwerandi­za mpolampola n’atandika bizinensi empya, kyokka nga zeetaaga ssente nnyingi n’okugula ebyuma ebipya, ekyamuleetera okufuna amabanja asobole okudda mu bizinensi.

Bizinensi zaali zitambudde bulun­gi, naye ne zijja zikubwa omuggalo gwa Covid 19, nga tezikyakola, ate nga zo bbanka zigenda mu maaso n’okubanja ssente buli mwezi.

Tags:
Biyinzika
yeerandiza
ttakisi
binojjo