Omuntu omu y’afiiriddewo n’abalala ne baddusibwa mu malwaliro ag’enjawulo nga bataawa oluvannyuma lwa loole nnamba UAM 905 H egambibwa okuba ng’ebadde eweenyuka obuweewo okugaana okusiba okukakkana ng’esaabadde abantu n’okwonoona ebintu bya bukadde.
Akabenje kano kaguddewo ku ssaawa ssatu ez’oku makya mu kibuga ky’e Mukono ku luguudo lw’e Kayunga - Bugerere.
Abeerabiddeko n’agaabwe bategeezezza nga loole eno ebadde etisse enkoko okuva mu kkampuni ya Biyinzika bw’eremeredde omugoba waayo okuva ku supermarket eya midway n’egaana okusiba olwo n’agireeta kiwalazzima kyokka ng’ebadde edduka nnyo, era nga esoose kusaabala motoka ezibadde ziyimiridde ku mabbali g’ekkubo okubadde loole ttipa Nnamba UBG 067A ku ssundiro ly’amafuta erya total.

Abaserikale Bwe Babadde Nga Basitula Omulambo Gw'omugenzi Okugussa Ku Kabangali.
Bagambye nti eno gy’esanze omusajja atategerekeseeko bimukwatako abadde atambula n’emuttirawo bw’emukoonye n’emubetenta yenna era ng’okuggyawo omulambo gwe abaserikale bakozesezza bitiiyo.
Eno oluvannyuma egudde ku mabbali g’ekkubo gy’esanze owa Boda Boda n’agibuukako n’adduka era nga ye awonye, wabula nga yo Boda Boda ye nnamba UFV 065G terutonze.

Loole Ekoze Akabenje Ng'egudde
Dereeva wa loole eno atategeerekese bimukwatako amazeemu omusubi era nga embeera eno ereeseewo akalippagano k’ebidduka okumala akaseera nga poliisi esiitaanye okuzza embeera mu nteeko.
Abantu bategeezezza ng’akabenje kano bwe kavudde ku mmotoka egaanye okusiba kyokka ng’abadde agivuga abadde agiddusa misinde.
Ssentebe wa Mukono Central Division Robert Kabanda asabye ab’ebidduka bonna okuddaabiriza emmotoka zaabwe era beewale okuzissa ku kubbo nga zirina obuzibu okwewala okukola obubenje.
Poliisi oluvannyuma eyoddewo omugenzi omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago n’emmotoka ekoze akabenje n’eggyibwawo ng’okunoonyereza bwe kukyagenda mu maaso wabula ng’omu ku bavunaanyizibwa ku kkampuni ya Biyinzika alabiseeko mu kitundu awabadde akabenje bw’atuukiriddwa agaanye okubaako ky’annyonnyola ku nsonga eno.