KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okubeera omukulembeze atayogera bwogezi ku by’enjigiriza wabula atandiseewo amassomero agasobola okulabirwako abalala.
Mayiga agambye nti omukulembeze ateeka mu nkola ebyo byayogera era Kabaka Mutebi II byazze ayogera ku by’enjigiriza era byazze ateeka mu nkola n’agamba nti Obuganda bwebutamusiima ku mulembe guno, ebyafaayo birimujjukira.
Okwogera bino abadde atikkula amassomero g’Obwakabaka wamu n’amalala ag’obwannayinni agakiise embuga okuleeta oluwalo lwaago mu kuwagira emirimu gy’Obwakabaka oluweredde ddala obukadde 92,500,000/-
“Kabaka tabadde nga bano abagamba nti kola nga bwengambye naye si nga bwenkola. Kabaka tayogedde bwogezi ku by’enjigiriza naye atulungamizza ffe abaami be netubangawo amassomero,” Mayiga bwayogedde.
Katikkiro Mayiga asinzidde wano n’agamba nti wadde Buganda yesanga mu kusomoozebwa kungi si wakukkirizza bantu ba Buganda okukwata ku ttama wabula n’abasaba okukola n’amaanyi okutuuka ku nkyukakyuka eyetaagisa.
“Nze sirina budde bwa muntu yeekwasa. Njagala bantu bajjagujjagu bbo abalaba ekisoboka wakati mu bizibu. Kyemuva mulaba nti wadde Buganda esomoozebwa, si baganya kukwata ku ttama. Abaana bano bwemubaleeta nebayiga ebintu byaffe nga bukyaali, abanatuddirira bajja kwanguyizibwa,” Mayiga bwagaseeko.
Ye Minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu Buganda, Joseph Kawuki yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’okuteeka mu nkola ekiragiro kya Kabaka eky’okutumbula eby’enjigiriza mu buli kadde awagira bajeti y’ebyenjigiriza by’Obwakabaka.
Minisita w’enkulakulana y’abantu ba Buganda era avunanyizibw aku ofiisi ya Nnaabagereka, Choltilda Nakate Kikomeko agambye nti olujjegere Kabaka lwakoze okuva ku massomero ga nasale okutuuka ku yunivasite lwakuyamba okutumbula eby’enjgiriza mu ggwanga bwatyo neyeebaza n’abakulira amassomero gano olw’okukunganya oluwalo luno n’agamba nti omwaka ogujja ayagala lusukke obukadde 100.
Ku lw’abakulira amassomero n’amattendekero g’Obwakabaka, Polof. Vicent Kakembo nga y’akulira Muteesa I Royal University yeebazizza Obwakabaka olw’obuwagizi obubaweebwa okutumbula eby’enjigiriza mu Bwakabaka ne Uganda okutwlaira awamu.
Omukolo gwetabiddwako Omukubirizza w’Olukiiko lwa Buganda, Patrick Mugumbule, Joseph Balikuddembe Ssenkusu omukiise mu lukiiko lwa Buganda ng’era y’akulira Buganda Royal Institute, Christopher Kalyesubula akulira Lubiri Nnaabagereka P/S ng’era ye Katikkiro w’ekika ky’endiga, Lawrence Muwonge owa Buddo SS n’abalala.
AMASSOMERO AGAKIISE:
Lubiri High School Mengo campus 10,000,000/-, Lubiri high school Buloba campus 10,000,000/-, Bbowa Vocational SS 2,500,000/-, Kasawo Institute of business and technical education 1,2000,000/-, Lubiri Nnaabagereka P/S 5,000,000/-, Ssekiboobo P/S 300,000/-.
Aga Nassale kubaddeko Mukwenda Nursery school Mityana 200,000/-, Pookino Nursery School Buddu 300,000/-, Ssekiboobo nursery school Kyaggwe 300,000/-, Kkangaawo nursery school Bulemeezi 100,000/-, Mbuubi Nursery school Buvuma 200,000/-, Kasujju Nursery School Busujju 100,000/-, Kitunzi Nursery school Gomba 530,000/-, Kkooki Nursery School e Kkooki 430,000/-.
Amatendekero aga waggulu kubaddeko Muteesa 1 Royal University 25,000,000/-, Buganda Royal Institute 25,000,000/- saako n’amassomero amalala agakolagana n'Obwakabaka mu kutumbula eby'enjigiriza; Trinity college Nabbingo 3,000,000/-, Mt. St Henry's high school mukono 2,000,000/-, Amity SS Nansana 500,000/-, Budo SS 2,000,000/- ne Mother Kevin College school Mabira 1,000,000/-