Amawulire

Basimudde amalaalo lwa nkaayana

OWOOLUGANDA asimudde amalaalo ga bakadde baabwe, ffamire n’etabuka nga bamulumiriza okwagala okutunda ettaka lya ffamire.

Kalule ng’alaga amalaalo agaasimuddwa muganda waabwe.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OWOOLUGANDA asimudde amalaalo ga bakadde baabwe, ffamire n’etabuka nga bamulumiriza okwagala okutunda ettaka lya ffamire.
Bino bibadde mu Masajja B Zooni e Masajja, abaana b’omugenzi Solomon Kawooya bwe batabuse olwa munnaabwe okusimula amalaalo ga bakadde baabwe, ebisigala n’abitwala awatannategeerekeka.
Omu ku baana, Paul Kalule agamba nti mukulu waabwe Jimmy Kasule ng’awerekerwako poliisi ne bakanyama, baalumbye amaka ga kitaabwe wiiki ewedde ne bagasimula. Agamba nti, bwe yabuuzizza ogubadde, abaserikale baamukutte ne bamusibira mu mmotoka ya poliisi okutuusa lwe baamalirizza.
Kyokka Kasule yannyonnyodde Bukedde nti, yafunye ekiragiro kya kkooti ekyamukkiriza okugasimula. Yalaze ekiragiro kya kkooti y’e Makindye ekiriko omukono gw’omulamuzi Patience Lorna Tukundane nga kiriko ennaku z'omwezi September 1, 2025. Ekiragiro kimukkiriza okusengula okuva e Masajja okugazza e Kyetume mu disitulikiti y’e Luweero.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Rachael Kawala yategeezezza nti, Poliisi yawerekedde Kasule ne be yabadde nabo okubawa obukuumi okuteekesa ekiragiro kya kkooti mu nkola, n’asaba abeemulugunya baddukire mu kkooti bafune obwenkanya.
Kasule yannyonnyodde nti kitaabwe Kawooya yaaziikibwawo mu 1983 naye waali wa mwannyina omugenzi Tabitha Naggayi nti naye Naggayi mu kufa yaleka awaddewo Kasule era ebiwandiiko abirina. N’agamba nti, kitaabwe okuziikibwa awo yafa mu lutalo nga baali tebasobola kutwala mulambo Luweero mu kiseera ekyo.