POLIISI ekutte abavubuka abaalabikira mu katabi nga bawalampa ekikomera e Makindye ne bakola effujjo ku gwe baasangamu bwe baamukuba n’okwasa amadirisa g’enju.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano, Racheal Kawala yagambye nti waliwo akatambi akaasaasaanira ku mitimbagano akalaga ‘eggaali’ y’abavubuka nga bawalampa ekikomera e Makindye ne bagwa munda ne bakola effujjo ku gwe baasangamu bwe baamukuba ne bamutwalako ebibye ssaako okwasa amadirisa.
“Waliwo akatambi akasasanira ku mitimbagano nga kalaga abavubuka bawalampa ekikomera ne bagwa munda era ne bakola effujjo. Poliisi yakutte abamu ku bo era baakuvunaanibwa,” Kawala bwe yategeezezza.
Yagambye nti poliisi oluvannyuma lw’okufuna akatambi kano, yatandikirawo okunoonyereza n’ekwata abamu ku baakalimu nga kigambibwa nti baali balumbye amaka ga Mukunja atasera.
Kawala yategeezezza nti ekikwekweto kyakoleddwa poliisi y’e Katwe ng’abaakwatiddwa kuliko; Ethan Ssali amanyiddwa nga Un Ruleynono nga ye yakuliramu banne, Isaac Ssenyonga ne Isaac Ssali. Yalabudde obubinja bw’abavubuka bwonna obutageza kukola ffujjo era bwe baba balina obutakkaanya, ensonga bazitwale ku poliisi okusinga okutwalira amateeka mu ngalo.
Omwan