OMULIRO gukutte amayumba ga Bakalamonja e Katwe omwana omu n’afiiramu. Eyafudde ye Ibrah Nyonyo, 2, nga mutabani wa Annet Kobusigye omutuuze w’e Katwe mu Katenda zooni mu Makindye.
Kigambibwa nti omuliro guno gwavudde ku b’amasannyalanze abaabadde balinnye omuti ne bakwata ku waya kyokka bwe baalabye gatandise okwaka, ne badduka. Abubaker Ssenyonjo akulira ebyokwerinda mu kitundu kino yategeezezza nti omuliro gwatandise ssaawa 10:00, ez’emisana ne gusaasaanira amayumba agaliranyeewo
omwabadde n’omwana nga yeebase.
Amayumba agaayidde gawerera ddala 10 ng’abamu baasigadde tebalina we beegeka luba okusinziira ku ssentebe wa Katenda Zooni, Lutu Mukasa.
Ssenyonjo yategeezezza nti abantu mu kitundu kino bazimba obuyumba bwa kumu kumu ekireetedde ebimotoka ebizikiza omuliro okubulwa we biyita omuliro ne gusaasaana.
Yayongeddeko nti bakyagenda maaso n’okunoonya abasajja abaalinnye ku muti ne baviirako amasannyalaze okwaka.