POLIISI ekutte abantu basstu ababadde bakozesa emitimbagano ne beeyita omuduumuzi wa poliisi mu ggwanga, Abas Byakagaba ne baggya ssente ku bantu okuli n’abaserikale nga babasuubizza okubakyusa ofiisi n’ebifo babateeke mu birala.
Ekikwekweto kino kyakoleddwa poliisi ya Jinja Road oluvannyuma lw’okubaako omuserikale gwe babadde baagala okuyingiza akatego kaabwe nga beeyise omuduumizi wa poliisi bwe bamuwerezza obubaka wabula n’abatebuka n’aggulawo omusango poliisi n’etandika okubanoonya.

Abakwate ku poliisi
Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Dianah Nandawula yakakasizza okukwatibwa kábavubuka bano nagamba nti bano waliwo omuserikale gwebabadde bawerezza obubaka ku itimbagano yabekengedde oluvayuma lwokukizuula nti engeri yebabadde bawandikamu obubaka nga tetukiridde saako nékyokumusaba ssente.
Yagambye nti abakwatiddwa kuliko Abubaker Othman Ariho, Fahim Bukenya ne Dalton Kaweesi nga bano poliisi yabalondodde n’ebakwata n’ebaggalira okuyambako mu kunoonyereza ku misango gy’okwefuula kye batali nókukozesa olukujjukujju ne baggya ssente ku bantu.
Yategezezza nti poliisi yayazizza abavubuka bano gye basula okusobola okuzuula bye babadde bakozesa mu kuzza emisango naddala amasimu né kkompyuta.
Yagambye nti abaserikale abamu babadde babasuubiza okubakuza , okubaggya mu bitundu gye bakolera ababasindike mu bitundu ebirala oba ebitongole bye basiimye okukolera nga bwe bamala okufuna ssente tebaddamu kubawuliza.