OMUSAJJA akwatiddwa obuggya n’alumba omuzigo gw’abadde muganzi we n'atemula musajja munne gwe babadde bazizza mu kifo kye
Bino byabadde ku Kiti B mu Kasangati omusajja John Masaba eyali muganzi wa Joan Nanfuka wabula n’amukyawa bwe yakwatiddwa obuggya ng’aawulidde nti waliwo omusajja gwe bazzizza mu kifo kye era nga yaleeteddwa mu muzigo okusulayo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Racheal Kawala yagambye nti kus saawa 7:00 ogw’ekiro ekyakeesezza ku Mmande nga March 23, 2026 Masaba yasazeewo okulumba omuzigo Nanfuka gw’apangisa oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti omusajja Nanfuka gwe yazza mu kifo yabadde agenzeeyo.
Yagambye nti Masaba yagenze ewa Nanfuka nékiso era bwe yatuseeyo nakokona musajja munne Vincent Kiyingi namuggulira nebalwanagana era Masaba nakozesa ekiso kyeyagenze nako namufumita namutta.
Yategeezezza nti Nanfuka yali afunye obutakkaanya ne Masaba ekyabaviirako okwawukana n’afuna Kiyingi ekitasanyusa Masaba kye yakozesezza okufumita musajja munne Vincent Kiyingi n’amutta.
Yagambye nti oluvannyuma lw’ettemu lino Masaba yagezezzaako okudduka wabula abantu ne bamutaayiza ne bamukwata ne bayita abaserikale abaamututte ku poliisi e Matugga n’aggulwako omusango gw’okutta omuntu ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.