GAVUMENTI etegeezezza nga mu kiseera kino bw'etalina busobozi bwonna buggyayo Bannayuganda abayinza okuba nga baasigalira mu ggwanga lya Iraq ne Israel awali entalo.
Minista omubeezi avunaanyizibwa ku by'emirimu n'amakolero mu Ministule y'ekikula ky'abantu, Easter Davinia Anyakun yategeezezza nti amawanga gano abantu bano gye bali gassa dda envubo ku by'entambula nga kati kizibu nnyo omuntu yenna okutaasibwa nti aggyibwayo.
Wabula yaggumiza nti ministule evunaanyizibwa ku nsonga z'ebweru eri wamu n'ebitebe bya Bannayuganda mu mawanga ago era bakwataganye dda n'abantu abo okubayamba era bali mu mikono mituufu tewasaanide kubaawo kweraliikirira kwonna.

Mu ngeri yeemu gavumenti erangiridde enteekateeka ggagadde ey'okulwanyisa okusomoozebwa okw'ebbula ly'emirimu okugambibwa nti kati kuli ku bitundu 13.3%.
Enteekateka eno egenda kutongozebwa nga 15 ne 16 April 2026 mu lukungana ggagadde olw'ebyemirimu olubeerawo buli mwaka era omumyuka w'omukulembeze w'eggwanga Jessica Alupo y'asuubirwa okuba omugenyi omukulu.
Bino Minista yabyogede nga asinzira mu lukung'ana lw'abaamawulire olwatuuziddwa ku Media Center mu Kampala ku Mmande.