Amawulire

Ekikwekweto kya Poliisi kiyodde 80 e Nateete, Busega ne Northern Bypass

POLIISI ekoze ekikwekweto mw’ekwatidde abateeberezebwa okwenyigira mu kubbira ku luguudo lwa Northern Bypass n'ebitundu ebiriraanyeewo.

Abaserikale n’abaakwatiddwa mu kikwekweto e Kyengera.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

POLIISI ekoze ekikwekweto mw’ekwatidde abateeberezebwa okwenyigira mu kubbira ku luguudo lwa Northern Bypass n'ebitundu ebiriraanyeewo.
Kiddiridde Poliisi okufuna okwemulugunya okuva mu bantu olw'obumenyi bw’amateeka obuzzeemu mu kitundu kino naddala akawungeezi n'ekiro.
Amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, SSP Dianah Nandawula yagambye nti, ekikwekweto kino kyakoleddwa poliisi y’e Nateete nga kyabadde wakati wa Busega ne Masanafu, Busega - Mityana ne Busega- Masaka. N’agamba nti, baakutte abantu 78 nga baasangiddwa n’enjaga, obwambe n’amajambiya.
“Poliisi yaffe e Nateete ebadde efuna okwemulugunya okuva mu bantu ng’obumwenyi bw’amateeka bwe bususse mu kitundu luguudo lwa Northern Bypass era mu kiro ekyakeesezza ku Mmande, abaserikale baakoze ekikwekweto,” Nandawula bwe yategeezezza.
Yagambye nti, mu wiiki emu Poliisi ekutte abateeberezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka mu bitundu eby’enjawulo naddala Kampala mwe bakwatidde abasoba mu 500 ne bavunaanibwa mu kkooti.
Mu kikwekweto kino, abaserikale baayingidde ekitoogo gye baasanze nga waliwo abeesenzaayo nga balinayo n’obuyumba kyokka nga tebalina lukusa lwa NEMA. Baasanzeeyo n’omusamize eyabategeezezza nti, emmandwa ze ze zaamusindikayo.
ABEBIJAMBIYA BAYINGIRIDDE AMAKA E MUKONO
Nandawula yagambye nti, mu kiro ekyakeesezza olunaku lwa Idd, abazigu abeebijambiya baayingiridde amaka g’omutuuze e Mukono mu Goma ne babba ssente obukadde 5, essimu 7, kaadi ya ATM, laptop n’ebirala.
Yagambye nti, bano baawalampye ekikomera ne bamenya enzigi olwo ne bayingira be babba wabula tewali gwe baatuusizzaako bulabe. Yagasseeko nti, Poliisi yafunye ebikwata ku bazigu bano era ebayigga.
Yagaseeko nti, ebikujjuko bya Idd byatambudde bulungi nga poliisi ng;eri wamu n’ebitongole by’ebyokwerinda yayiye abaserikale mu bifo eby’enjawulo okulawuna