Amawulire

Minisita agumizza abeebibanja ku babasengula ku ttaka

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja agumizza abeebibanja nga bw’atajja kukoowa kubalwanirira ku bannannyini ttaka ababagobaganya kuba gwe mulimu ogwamuweebwa Pulezidenti Museveni.

Minisita Mayanja
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja agumizza abeebibanja nga bw’atajja kukoowa kubalwanirira ku bannannyini ttaka ababagobaganya kuba gwe mulimu ogwamuweebwa Pulezidenti Museveni.
Mayanja yasinzidde mu pulogulaamu Mugobansonga Special ebeera ku Bukedde FM buli lwa Ssande ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi ekubirizibwa Terah Kaaya. Yagambye nti, obuvunaanyizibwa obwamuweebwa obw’okulwanirira abeebibanja akyabuliko nnyo kuba eyamutuma y’akulira Gavumenti era nnannyini buyinza.
Mu mbeera eno, mwe yaddiddeyo e Kakunyu mu disitulikiti y’e Wakiso okutaasa abeebibanja abagobaganyizibwa Dr. Apollo Kaggwa. Bwe yabadde tannaba kugendayo, yasoose kufuna bbaluwa emutiisatiisa okuva ewa Kaggwa ng’amulabula nti, bw’aba agenda ku ttaka lye amale kulaama.
“Kyokka bwe nneebuuzizza engeri gye ng’enda okutunuuliramu omuduumizi ow’oku ntikko, eyantuma olw’okuba ntidde Kaggwa ne ng’amba tekisoboka. Kyokka ekyampangudde bwe nategeezezza abatwala abeebyokwerinda ne bansaba mbaweemu ennaku ssatu beetereeze ne nneewuunya. Nagambye ka nnumbe era nalese bacacanca nga mbagambye badde ku bibanja byabwe,” Mayanja bwe yagambye.
Abeebibanja balina okukimanya nti, kkooti ne bw’eba ewadde ekiragiro ekisengula omuntu, kirina kusooka kuyita mu kakiiko akakola ku butebenkevu aka District Security Committee akakubirizibwa RDC.
Kyokka nabo balina okwebuuza ku minisita w’ebyettaka kuba singa bakola ensobi be bavunaanyizibwa ng’abantu. Omuntu yenna asangiddwa ku ttaka abeerako n’obwannannyini era abagula ettaka ly’ebyapa nga kuliko abasenze nziramu okubajjukiza nti, obeera oguze mpewo.
Olw’okuba Pulezidenti ayagala abeebibanja kye yava yampa Pulogulaamu ku Bukedde FM buli lwa Ssande ate n’olupapula lwa Bukedde ne lubifulumya ku Lwokubiri. Kino kitegeeza aba tawulidde leediyo waakiri osome Bukedde. Olw’okusomesa abantu n’okubalabula y’ensonga lwaki mu kiseera kino buli Mayanja gy’agenda okutaawulula ensonga z’ettaka, abantu bamugamba nti, ensonga yo weeri.
Ssemateeka wa 1995 alambika bulungi obwannannyini bw’ettakaobw’enjawulo okuli; obwa mayiro, erya Gavumenti, liizi n’ebirala. Kyokka okukyuka kwa nnannyini ttaka okugeza ekyapa okuva mu mannya g’omuntu omu okudda mu g’omulala, tekikosa musenze alinako obwannannyini.
Pulezidenti kino azze akinyweza n’ebiragiro by’azze awa ebigaana nnannyini ttaka yenna okutaataaganya oweekibanja. Enkola ya bannannyini ttaka okusala ku bibanja by’abantu mbu babawe ebyapa tekikkirizibwa mu mateeka.
Oweekibanja wa ddembe okutunda bw’aba ayagadde ne bamuwa ssente z’ayagala, kyokka bw’aba tayagadde era asigaza obwannannyini ku kibanja kye nga bwa nkomeredde tewali amukuba ku mukono.
Enkola y’abantu okuva eri omuzzukulu n’agamba nti, lino ettaka lyali lya jjajjange tebikola kuba n’etteeka ly’obusika (Succession Act) lkoma ku bamulekwa, bannamwandu n’abazzukulu abasooka.
“Simanyi kyatuuka ku bantu, omuntu ajja atya n’agamba nti, ettaka lya jjajjaawe eyalifuna mu 1903 nga talikubisanga ne wabulawo aguguba. Ebyo bibeera bya ppa era mubeera munyumyamu mboozi” bwe yagambye. Mayanja yageraageranyizza ebigambo bya Pulezidenti ku Bayibuli ky’egamba nti, “Empologoma ewulugumye ani ataatye?”
Pulezidenti bw’awa ekiragiro buli muntu abeera alina okukiteeka mu nkola. Tewali tteeka mu Uganda ligamba nti, ow’ekibanja talina buyinza ku ttaka lye.
Ettaka lya Public lyateekebwa mu mikono gya Uganda Land Commission ne mu District Land Board era nabo tebalina buyinza bugaba ttaka liriko basenze. Bwe
ALI WASSWA
bakikola abatuula ku bukiiko obwo bavunaanibwa era ne bye babeera bakoze bisazibwamu.
Mu Uganda mu kiseera kino tewali tteeka liteekawo Regional Land Board era mu mutima guno ekitongole kya Buganda Land Board kikolera bweru w’amateeka. Tewali nsonga lwaki ekitongole kigenda kitulugunya abantu nga kigamba nti, kikuuma ttaka lya Bwakabaka eritaliiwo.
Bw’ogula ettaka nga kuliko ow’ekibanja, obeera oguze mpewo. Abali ku bibanja byabwe, nga tebannakwata muntu yenna, RDC yingirawo oyite olukiiko lwa Security Committee era mwebuuze ku minisita w’ebyettaka.