Bya Lawrence Kizito
SAMUEL Mukasa Biyinzika, nnannyini Biyinzika Enterprises Limited, yasooka kuvuga ttakisi n’agenda nga yeerandiza okutuuka lwe yazimba obugagga obuvuluuja.
Mu kiseera kino ebyobugagga bye biri ku kaguwa, oluvannyuma lwa bannamateeka ba Cairo Bank, ebanja Biyinzika aba Tumusiime, Kabega and Company Advocates, okulanga mu mawulire ebyobugagga bye nti byakutundibwa ku nnyondo mu nnaku 30 okuva ekirango bwe kyafulumye mu mawulire ku Lwokubiri nga September 12,2023.
Bbanka ya dfcu ne Cairo zibanja Biyinzika ssente obuwumbi 20, ezimulemye okusasula, nga okusinziira ku mutabani we Isaac Mukasa, beetaaga obuwumbi 30 okusobola okudda engulu. We twogerera bino bizinensi za Biyinzika zonna tezikyakola, olw’okubulwa ssente eziddukanya emirimu.
Olwaleero tukuleetedde emboozi ku ngeri Biyinzika gye yeerandiza n’afuuka omulunzi w’enkoko era omukozi w’emmere yaazo omu ku basinga mu buvanjuba bwa Africa.
BIYINZIKA Y’ANI?
Mu mboozi ey’akafubo Biyinzika gye yalimu n’olupapula lwa Bukedde mu 2014, agamba nti yazaalibwa Rev. Canon Nasanayiri ne Dinah Mukasa kati abagenzi nga baali batuuze b’e Nantabulirirwa, Seeta - Mukono.
Yasomera Ntinda Primary School, gye yava n’agenda ku St. Mary’s Kisubi, bwe yava mu ssomero yatandika omulimu gw’okuvuga ttakisi mu Kampala. Olw’obukozi n’amazima, Biyinzika yakuhhaanya mangu ssente n’agula ttakisi eyiye, n’ava mu y’omugagga.
Yanyiikira n’agula ttakisi endala nnya ze yawa baddereeva ne batandika okuvuga nga bwe zimuwa ssente buli lunaku.
Wakati ng’ali mu mulimu gw’okusaabaza abantu n’ebitereke, yavugako kabangali ng’asomba ebirime okubituusa mu katale e Nakasero naddala mu mwaka gwa 1980.
Mukasa agamba nti ttakisi yamuyigiriza ebintu bingi, nga ekisinga obukulu mu byonna kwe kwenyigira mu mirimu n’otagirekera bakozi, ekikuyamba okumanya bizinensi bw’etambula.
OKUTANDIKA KKAMPUNI YA BIYINZIKA
MU 1990, Mukasa ne mukyala we baasalawo okuyingira bizinensi y’enkoko era ne batandika kkampuni ya Biyinzika Enterprises Limited. Eemirimu gyayo okuva ku ntandikwa gyali mu bizinensi ya kulunda nkoko, wabula oluvannyuma yagaziwa n’etandikawo n’emirimu emirala ng’okulima ovakedo n’okukola butto.
Okusinziira ku mutabani wa Biyinzika, Isaac Mukasa, kkampuni eno ezze egaziwa mpolampola ng’ekola ebintu ebiri ku mutindo, era ng’abalunzi b’enkoko bagyenyumiririzaamu nnyo.
Biyinzika ye yatandika okukola emmere y’enkoko eya Pellets, ne yeegulira erinnya mu balunzi b’enkoko okwetooloola eggwanga.
Kuno yagattako okwaluza obukoko, okukola emmere y’enkoko n’ebisolo, okulma ovakedo n’okukamula butto.
Yafuna akatale akagazi okwetooloola amawanga g’obuvanjuba bwa Africa, okuli Tanzania, Kenya, Rwanda, Burundi ne Uganda.
Wansi wa kkampuni ya Biyinzika, mulimu bizinensi ez’enjawulo, omuli eya Tyson Feeds, ekola emmere y’enkoko n’ebisolo, Tyson Chicks eyaluza obukoko, kw’ogatta okulima ovakedo ow’ekika kya Hass, Fuerte, ne Pinkerton, nga abirimira ku bugazi bwa yiika 200 e Nakaseke.
BASONZE KU NKWE EZIMU KU ZIMUUDDE
Ensonda mu balimi n’abasuubuzi zigamba nti Biyinzika yaleeta entabula y’emmere y’enkoko empya mu Uganda, n’ayatiikirira nnyo. Kuno yagattako okutuusa enkoko ezibiika amagi ge baaluzaamu obukoko (Parent Stock), abalimi ne bamwagala nnyo kubanga obukoko bwe bwali bugumira embeera n’endwadde.
Kigambibwa nti kino kyaleetawo okusika omuguwa n’abaali mu bizinensi y’emu, ne baluka olukwe olw’okumusuula. Mbu baasooka kumusindikira abantu okumuwa amagezi, nga baagala agaziye bizinensi, okukkakkana nga baguze emigabo mu kkampuni ye ne bafundikira nga bagimulemesezza.
Era kigambibwa nti bwe yamala okufutizibwa, yaddamu okwerandiza mpolampola n’atandika bizinensi empya, kyokka nga zeetaaga ssente nnyingi n’okugula ebyuma ebipya, ekyamuleetera okufuna amabanja asobole okudda mu bizinensi.
Bizinensi zaali zitambudde bulungi, naye ne zijja zikubwa omuggalo gwa Covid 19, nga tezikyakola, ate nga zo bbanka zigenda mu maaso n’okubanja ssente buli mwezi.