KKOOTI ewuniikiridde, omulamuzi e Turkey bw’akalize omusajja omutandisi wa kkampuni y’abafere eya ‘crypto Currency’ emyaka 11,196! Bw’ogamba nti amusibye n’omuzimu gwe n’agusibiramu oba tolimbye.
Kubanga omusibe ono tasobola kuwangaala wadde ekitundu ky’amakkati g’emyaka gino nga akyali ku nsi.
Gwe baasindise mu mbuzi ekogga amaleyo olukunkumuli lw’emyaka gino ye Faruk Fatih Özer, omutandisi wa kkampuni ya crypto exchange Thodex ey’e Turkey, mwe yasinziira okubba abantu obusente bwabwe bwonna n’abukaliza, ng’abawa amagezi
okusiga ssente ku mitimbagano, nga agera bazitaddeyo, n’aggala emikutu kwe bazitadde ate nga tebalina waakumusanga.
Gye byaggweeredde nga kkooti emusingisizza ogw’okubba ku bantu abasoba mu mitwalo 40 akavangata ka ssente ka bbiriyooni bbiri (2) eza doola, omulamuzi n’amusalira emyaka 11,196, emyezi 10 n’ennaku 15 ng’ali mu kkomera.
ONO SI Y’ASOOSE OKUSIBWA EMYAKA EGITAKKIRIZIKA
Abamanyi ebyafaayo baggyeeyo bwino ku bazze bazibwa emyaka emingi egikirako obugulu bw’eggongolo.
1. Chamoy Thipyaso, munnansi wa Thailand, yasibwa emyaka 141,000 lwa kufera bantu.
Omukyala ono y’alina likodi y’omuntu akyasinze okusibwa emyaka emingi bukya nsi
ebaawo. Yasibwa oluvannyuma lw’okumusingisa ogw’okufera abantu abasoba mu 16,000. Ono y’akulembeddeolukalala lw’abaali basibiddwa emyaka emingi mu kitabo ky’ensi eky’ebyafaayo ekya Guinness Book of World Records.
Omukyala ono yavunaanibwa ogw’okuteekawo ekittavvu ekyali kyefaanaanyirizaako eky’e Buyindi ekya ‘Chit fund’, gye yatuuma ‘Mae Chamoy Fund’, olwo n’atandika okusolooza ssente mu bantu bonna ab’e Thailand omwali n’aba famire y’olulyo Olulanira mu Bwakabaka obwo.
We baamukwatira mu 1988, nga ekittavvu yaakakikuaanyaamu obukadde bwa doola obusoba mu 204 wabula nga zonna yazeezibika. 2. Charles Scott Robinson yasibwa emyaka 30,000: Mu December wa 1994, omulamuzi yamusalira ekibonerezo kya kumala mu kkomera emyaka 30,000 olw’okukabassanya abaana abato. Mu misango egyavunaanibwa ssedduvutto ono, mwe mwali n’ogw’okukwata ebbujje ery’akawala ak’emyaka esatu (3) gyokka. Omulamuzi Dan Owens gwe gumu ku misango kwe yasinziira n’asalira Robinson ekibonerezo kya kukulungula mu kkomera emyaka 30,000.
N’okutuusa kati Robinson 60, akyali munda nga bw’awadaawadako ng’asaba oluwanga obulamu, bw’ojja nti nnannyini lwo yali abwagala!
3. Amuddirira Mumerica, omutujju Terry Nichols eyavunaanibwa n’asingisibwa ogw’okwekobaana n’eyali mujaasi munne Timothy McVeigh okukuba bbomu mu kibuga kya America ekya Oklahoma mu 1995 omwafiira abantu 168 omwali n’abaana
19.
Newankubadde kyazuulwa nti Terry yagezaako okukivaamu ng’alaba abantu batandise okufa ekifa mukokko, kkooti yamusingisa ogw’okubeera mu kkobaane, n’emusindika mu kawome akulunguleyo emyaka 13,325, awatali mukisa gwa kumuddiramu kwonna. Ate munne McVeigh ayakulembera okutega bbomu zino, ye yasalirwa gwa kalabba era n’attibwa.Nichols, 68, ali mu kkomera lye limu ery’e Colorado n’abasajja
okuli abagambibwa okuba abatujju ab’amaanyi omuli Ted Kaczynski, Eric Rudolph ne Ramzi Yousef, Omupakisitani eyasingisibwa ogw’okukuba ekifo kya World Trade Center mu 1993 ku bizimbe bya Twin Towers mu America.
4. Abdullah Barghouti (6,875): Ono ali mu kifo kyakutaano eky’omuntu akyasinze okusibwa emyaka emingi. Y’addirira Faruk Fatih Ozer, gwe baasibye wiiki ewedde emyaka 11,196.
Barghouti, enzaalwa y’e Kuwait, mu 2004 yasibwa Gavumenti ya Yisirayiri abeere mu kkomera okumala emyaka 6,875 olw’okukola bbomu, n’okuzeeyambisa okutta Abayisirayiri abawerako n’Abamerica abasoba mu bataano (5).
Barghouti 32,yakkiriza okuzimbabbomu ezatta abantu 66 n’okukosa abalala 500 omwali
n’okukuba Hebrew University mwe yattira Abamerica bataano
n’Abayisirayiri, abawerako n’okukuba ebifo ebirala.
5. James Holmes, Colorado (3,618) Holmes, 27, mu 2015 yasibwa emyaka 3,618
olw’okulumya abantu be yasindirira amasasi, n’okutega bbomu ez’enjawulo mu nju ye.
Ono kigambibwa nti mu July, 2012 yayambala erementi n’akakookolo n’atandika okusasira ebyasi ne ttiyaggaasi mu badigize abasukka mu 700 abaali mu kifo kya heater 9 - Century 16 megaplex mu Aurora. Owamala okukaliza emmundu ze, ne yeewaayo mu mikono gya poliisi.