Bya Saul Wokulira
Omuwala alondodde bba gy'akolera asanze yawasizaayo omukazi omulala n'atabuka.
Bba amukinaggukidde nti ye nga omusajja tapimirwa muwendo gw'abakazi kubanga yeesobola ne wankubadde abantu bangi ekya ‘ekonome’ ekalubye baalufuula luyimba.
Omukazi yeesozze ekisenge n'awamba obuwale bw'omukazi n’olugoye lw’abafumbo, bba lw'agamba nti balweyambisa mu kitanda.
Bba amukwatidde mu mulyango ng’ agenda n'amusikako obuwale wabula olugoye lw’abafumbo ategedde luvannyuma nti agenze nakyo.
Bba amuwondedde ppaka lw'amukwatidde e Namagabi wabula omuwala olugoye lw'abafumbo n'alulemera.

Kipanda Ne Mukyala We Buyimbe.
Joan Buyimbe 22 ye yavudde e Busoga n'ajja e Kayunga oluvannyuma lwa bba Michael Kipanda Byansi okumala omwezi mulamba nga takomyewo waka ate nga bweyali yaakafuna omulimu ng’amala ennaku ssatu n'adda awaka okulaba ku bantu be n'okutuukiriza obuvunaanyizibwa.
Buyimbe agambye nti bba obuvunaanyizibwa yabusuula nga akameeza amuwa 5,000/-, nga zikola wiiki kuno kw'assa obutamuwa byetaago wadde akawale akoomunda.
Buyimbe yasaba bba aggyeko e Kayunga amulabeko n'okukola obuvunaanyizibwa bw'amaka ne Kipanda n'akkiriza.
Abantu basanze abafumbo bano benyoolera ku kkubo ng’ omusajja abanja ekitambaala omukazi nga bwe yeegaana kwe kubatwala ku disitulikiti ewa Collins Kafeero akola ku maka n'eddembe ly'obuntu n'abatuuza.
Kipanda agambye nti mu kukkiriza omukazi okujja e Kayunga teyategedde nti omukazi yabadde n'ebigendererwa ebirala kubanga yamuweerezza bodaboda emureete mu kifo we yagiragidde wabula omukazi yagaanyi okugirinya n'afuna endala eyamuleese.
Kipanda anenyezza mukazi we olw'okupapira ensonga kubanga abadde tannatuusa kiseera kumulaga muggya we.

Kafeero Ng'asomesa Abafumbo.
Kipanda asabye mukazi we nti ensonga aleme okuzitwala mu bakadde kubanga taata Buyimbe yabawaddeyo ku ssente z'entandikwa era nga agenda na kubagulira pikipiki bakole beekulaakulanye.
Omukazi agonze n'addiza bba olugoye lw’abafumbo.
Kafeero ababuuliridde okubeera abagumiikiriza n’abagamba nti mu bufumbo temubeera kukoppa kubanga ebizibu by’obufumbo tebifaanagana.
Kafeero alagidde Kipanda awe omukazi ssente kitaawe ze yamuweerezza okugula ebikozesebwa mu kukola enviiri era atwale obuvunaanyizibwa bw’omu maka sso n’omukazi awulire bba era akomye eby’okweraguza.