Amawulire

Mukazi wange namuwasa tamanyi kufumba era namala emyaka 2 nga muyigiriza - omuzannyi wa firimu Mathew Nabwiso

Omuzannyi wa firimu era dayirekita waazo omwatiikirivu, Mathew Nabwiso owa Nabwiso Films yavuddeyo n’ategeeza ensi bwe yabadde ku ttivvi emu nti kabiite we, Eleanor Nabwiso yamugambirawo nga tannamuwasa nti ye yali tamanyi kufumba.

Mathew ne Eleanor Nabwiso bwe baali boolesa ku Abryanz style and Fashion Awards (ASFAs) nga December 16, 2022. Ekifaananyi Ivan Kabuye.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Daphine Semakula

Bannange omukwano nga weguli buli kimu kisoboka!

Gye buvuddeko omuyimbi Angella Katatumba yavaayo n’agamba nti ye tamanyi kufumba era abantu bangi baawulirwa nga bamugeya ate abalala nga bamuwagira nga bagamba nti mwana wa mugagga, naye ono tali yekka naye abawala bangi abali mu kiti kino.

N’omuzannyi wa firimu era dayirekita waazo omwatiikirivu, Mathew Nabwiso owa Nabwiso Films yavuddeyo n’ategeeza ensi bwe yabadde ku ttivvi emu nti kabiite we, Eleanor Nabwiso yamugambirawo nga tannamuwasa nti ye yali tamanyi kufumba. Mu kiseera kino Eleanor Nabwiso yali amaze emisomo gye mu Makerere University.

Mathew And Eleanor Nabwiso Ku Mukolo Gw'engule

Mathew And Eleanor Nabwiso Ku Mukolo Gw'engule

“Omanyi omuntu bwe muba mwagalana buli omu aba alina okweyabiza munne. Olwali okulaba omuwala ono ne manya nti gwe ngenda okuwasa.  Era nange munnange bwe yantegeeza n’amugamba nti tofaayo nja kuyigiriza kubanga mmange yali yangiriza okusiba, okusaaniika n'okufumba emmere. Kino tekyandobera kumuwasa. Bwentyo namala emyaka ebiri nga njigiriza mukazi wange okufumba era bwe yayiga n’angoba mu ffumbiro,’’ bwe yategeezezza gye buvuddeko bwe yabadde ayogera ku bulamu bwabwe obw’obufumbo.

Abafumbo bano mu kiseera kino obufumbo bamuzeemu emyaka 10 be ddu era balina n’abaana bana naye bw’obalaba oyinza okulowooza nti baakeefuna.

Banabwiso baasisinkana mu 2010 nga bazannya omuzannyo ogwayatikiirira ennyo ogwa Hostel,  ne bafumbiriganwa mu 2013

Eleanor Nabwiso 34, yazaalibwa mu Sir Albert Cookmu ddwaaliro  ly'e Mengo  Rev. Dr. Kefa Sempangi ne Jane Frances Nakamya era nga mwana waakusatu ku baana 5 be balina.

Eleanor Vaal Nansibo Nabwiso  muzannyi wa firimu, pulodyusa, diyirekita azannye mu mizannyo nga The Hostel, Rain, Beneath the Lies - Bed of Thorns nga diyirekita era ye ne bba be bannanyini kkampani eraga firimu  eya  Nabwiso Films ng'eno y'eraga ne firimu ya Sanyu.

Ababiri bano bazannye firimu nnyingi era bawangudde engule mpitirivu.

Ate Mathew Nabwiso azaalibwa Maama Christine Nabwiso ne Dr. Frank Nabwiso  eyaliko omubaka we Jinja mu palamenti. Ono mwana wa musanvu ku baana, 11.

 

 

.

Tags:
Mathew Nabwiso
mukazi wange
okufumba
tamanyi