Amawulire

Vision Group yeeyamye okuyamba abazannyi ba firimu

ABAZANNYI ba firimu mu Uganda bakubiriziddwa okukolagana ne kkampuni ya Vision Group, basobole okutumbula bye bakola eri abantu n’okukuza omulimu gwabwe.

Osike (ku ddyo) ng’akwasa Sadat Yiga engule gye yawangudde..jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Hussein Kiganda ne Lawrence Kizito

ABAZANNYI ba firimu mu Uganda bakubiriziddwa okukolagana ne kkampuni ya Vision Group, basobole okutumbula bye bakola eri abantu n’okukuza omulimu gwabwe.

Bino byayogeddwa amyuka omukung’aanya wa Vision Group ow’oku ntikko, Felix Osike, ku mukolo gw’okugaba engule eri abazannyi ba firimu abakize ku bannaabwe, ng’empaka zino zimanyiddwa nga ‘The New Vision People’s Choice Film Awards’, ng’omukolo gwabadde ku kitebe kya New Vision e Lugogo mu kibangirizi kya bannamakolero era gwalagiddwa butereevu ku Urban TV.

Osike yagambye nti okufulumya firimu kintu kya bbeeyi nnyo, kyokka singa firimu zino ziba ziragiddwa eri abantu abawera, kibayamba okufuna omukisa okukyusa obulamu bwabwe n’okwongera okuzimba omulimu gwabwe, nga kino kkampuni ya New Vision ky’egenda okubawa singa bakolagana nayo.

Yasabye abawanguzi okweyagalira mu buwanguzi bwabwe, kubanga abantu abalaba firimu zaabwe be baabalonze.

Yeeyamye nti Vision Group yaakugenda maaso n’okuwa abantu ebintu ebibazimba era ebikyusa obulamu bwabwe, n’abasaba nabo okufulumya firimu ezikwata ku bulamu bw’abantu.

Abawanguzi baalaze essanyu ne beebaza Vision Group olw’okutegeka empaka zino nti kibongedde amaanyi.

Sadat Yiga, omuteesiteesi era omutendesi wa firimu, yawangudde engule ya firimu esinze eya ‘The Kitara Chronicles’. Yiga yalaze essanyu, ne yeebaza baakola nabo, ne mukyala we, olw’okumubeererawo mu mbeera zonna, ekimuyambye okutuuka ku buwanguzi buno.

Omuwanguzi omulala Joseph Kahirimbanyi, eyawangudde engule y’ennyimba ezisinze obulungi mu firimu yeebazizza Vision Group olw’okutegeka empaka zino ne kibayamba okumanyibwa.

Ate ye Mathew Nabwiso, nga firimu ze okuli ‘Sanyu’ ne ‘When You Become Me’ ze zimu ku zaavuganyizza, yeebazizza New Vision olw’okuyiiya empaka zino nti zibayambye okumanyibwa abantu.

Ate ye Richard Mulindwa, nga firimu ye ‘The Test’ yavuganyizza nnyo, yalaze obukulu bw’okufuna abawanguzi abapya, n’agamba nti wadde yandyagadde okuwangula buli ngule gye yeetabamu, naye abapya bwe bawangula, omulimu gwabwe guba gukula.

Tags:
Vision Group
okuyamba
abazannyi
firimu