Amawulire

Ebijaguzo eby’emyaka 40 egya New Vision

ABANYUMIRWA omuziki, baafulumye ekisaawe e Kololo ku Lwokutaano nga banyumiddwa bya nsusso!

Don Wanyama nga yeebaza abaajagulizzaako New Vision.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABANYUMIRWA omuziki, baafulumye ekisaawe e Kololo ku Lwokutaano nga banyumiddwa bya nsusso!

bantu nga banyumirwa endongo ya Bamakoma.

bantu nga banyumirwa endongo ya Bamakoma.

Baabadde mu bijaguzo bya New Vision eby’okuweza emyaka 40 mu buweereza. Bandi ya Makoma erimu abayimbi enzaalwa y’e Congo, ye yakulembeddemu okusanyusa abantu era yalinnye ku siteegi ku ssaawa 4:30 n’ekuba kayimba ku kayimba ng’abantu bwe banyumirwa wakati mu byambalo ebyakaayakana bakira bye bakyusa.

Natalie Makoma, omu ku bayimbi abali mu bandi ya Makoma ng’ayimbira abantu.

Natalie Makoma, omu ku bayimbi abali mu bandi ya Makoma ng’ayimbira abantu.

Don Wanyama, akulira Vision Group yeebazizza abantu abaajagulizzaako New Vision. Era yeebazizza abawagidde ekivvulu kino okuli; Pacific Events, NBS TV, Pepsi, MTN, Sky’s Hotel Naguru, Safe Boda, Sumz n’abalala. Bamakoma baawerekeddwako abayimbi okwabadde Pasita Bugembe, Recheal K, Pasita Brian Lubega n’abalala.