POLIISI yeeweze okufeffetta abazzi b'emisango mu buli kanyomero, okulaba ng'obumenyi bw'amateeka , bukendeerera ddala.
Mu kikwekweto ekikoleddwa mu kiro ekikeesezza leero, mu zzooni ya Kevina e Nsambya e Kabalagala, Kakuuta e Namataba Mukono, Kyebando okumpi ne Premax Hotel , Kisalosalo e Kyebando, Nkurama rd ne Ntebe traffic lights mu Kampala, wamu ne ku bitaala bya Luzira - portbell Rd, bayodde 39.
Mu bye baabasanze nabyo, mulimu enjaga ey’obusigo, ey'obukoola , ebigambibwa okuba ebibbe , obusawo n'amasimu n'ebirala.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti, bakyafeffetta abalala.