Amawulire

Abazigu bafumise ow'emyaka 25 omulambo ne baguzinga mu ttawulo ne bagusuula wabbali w'oluguudo!

ABATEMU abatannamanyika, bafumise omuwala ow'emyaka 25 ebiso ne bamutta, oluvannyuma omulambo gwe ne baguzinga mu ttawulo ne bagusuula ku mabbali g'oluguudo.

Abazigu bafumise ow'emyaka 25 omulambo ne baguzinga mu ttawulo ne bagusuula wabbali w'oluguudo!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABATEMU abatannamanyika, bafumise omuwala ow'emyaka 25 ebiso ne bamutta, oluvannyuma omulambo gwe ne baguzinga mu ttawulo ne bagusuula ku mabbali g'oluguudo.

Bibadde ku kyalo Bajjo Lumansi  mu ggombolola y'e Nyimbwa e Luweero, abatemu bwe basse Sarah Kabahwezi 25 abadde amanyiddwa nga Shilat,  Omulambo , gubadde gujjudde ebiwundu by'ebiso ebiwerako.

Kigambibwa nti y'andiba ng'attiddwa muganzi we Gilbert Tumwesigye amanyiddwa nga Rast Niga Bwayi, gw'abadde abeera naye.

Kitegeezeddwa nti entabwe, y'andiba nga Tumwesigye , Sarah yamusanze n'omusajja omuvuzi wa bbooda era nga wano we waavudde obuzibu n'amufumita ebiso n'amutta.

Omwogezi wa poliisi mu Savannah, Sam Twineamazima, agambye nti Tumwesigye bamukutte ne bamuggalira ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Tags:
Bazigu
Kufumita
Mulambo
Ttawulo
Kusuula